TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekutte n’eggalira abakozi bana ab’omu maka ga Minisita Kibuule

Poliisi ekutte n’eggalira abakozi bana ab’omu maka ga Minisita Kibuule

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2019

POLIISI ekutte n’eggalira abakozi bana ab’omu maka ga Minisita Ronald Kibuule bagiyambeko mu kubuuliriza ku ngeri abalongo be gye baagudde mu kidiba ky’awaka ekiwugirwamu ne bafiiramu.

Mampaati1 703x422

Omulabirizi Ssebaggala ( ku ddyo) ng’asabira Kibuule. Atudde ye kitaawe wa Kibuule.

Abakwatiddwa kuliko; ababadde balera abaana bano okuli; Peace Nankunda 23, ne Scovia Nalubwama ow’emyaka 32.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango, yategeezezza nti abalala abakwatiddwa ye; Lawrence Kibaya 33, alongoosa awaka naddala okulabirira oluggya n’ebimuli n’omukuumi (askari) Agripa Kumanya.

Baakwatiddwa ku Mmande akawungeezi amangu ddala ng’abalongo baakafa. Bakuumirwa ku poliisi e Mukono.

Poliisi egamba nti bajja kugiyambako okuzuula ekituufu kyokka kati babataddeko emisango gy’okulagajjalira abaana ne batuuka okugwa mu kidiba ne bafiiramu.

Obulagajjavu musango oguli ne mu konsitityusoni mu katundu nnamba 244.

Kyokka abantu abamu tebamatidde kukwatibwa kw’abakozi kubanga mu kikomera ewa minisita waabaddewo abantu abalala mu kiseera abaana we baagwiridde mu kidiba.Abandisoose okukwatibwa kuliko mulamu wa Kibuule eyakazibwako erya Kwiini era ye yasoose okulaba emirambo gy’abaana mu kidiba.

“Kwiini ye yasembye okuba n’abaana kyokka yabalese wansi n’alinnya waggulu mu kalina. Abakozi abawala baabadde mu kiyungu. Asikari yabadde ku gigye gya kukuuma ku geeti ,” omu ku ba famire bwe yategeezezza Bukedde.

Kigambibwa nti mu busungu n’okusoberwa, Kibuule ye yalagidde okukwata abakozi be olw’obulagajjavu. Era yasoose kwagala ne mukazi we Nnaalongo azaala abaana naye akwatibwe kubanga naye yalagajjadde.

“Yabadde akola ki mu nju ng’abaana bali bweru?”, Kibuule bwe yeebuuzizza. Kyokka oluvannyuma yakkakkanye n’akungubagira wamu n’omukyala.

Kigambibwa nti Kibuule abadde n’abaana abalenzi basatu abalala bawala. Amaka ga Kibuule galimu kkamera ez’amaanyi eziraba buli wamu, kyokka abaana we baagwiiridde mu kidiba zaabadde tezikola olw’amasannyalaze okuvaako.

Kibuule yennyini bwe baamubikedde yasoose kugamba: ekisse abaana bange nteekwa okukimanya kubanga awaka nninawo kkamera.

Era yaleese abakugu nga bakolera wamu ne bambega ba poliisi okutunuulira obutambi bwa kkamera kyokka nga tekuli kantu.

We baakeberedde kkamera, amasannyalaze gaabadde gaaka. Baategedde luvannyuma nti abaana we baagwiiridde mu kidiba amasannyalaze gaabadde tegaliiko.

Abeebyokwerinda banoonyereza okuzuula ekituufu oba nga amasannyalaze gaavuddeko gokka oba gaggyiddwaako mu bugenderevu.

Abamu baanenyezza Kibuule obutateeka lukomera ku kidiba ate ng’aina abaana awaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab1 220x290

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa...

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa nnyina n'azirika

Sab1 220x290

Ababadde bagufudde omuze okubba...

Ababadde bagufudde omuze okubba mukama waabwe kkamera zibakutte

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...