TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bugingo yeetondere mukazi we mu lujjudde - Omusumba Kyazze

Bugingo yeetondere mukazi we mu lujjudde - Omusumba Kyazze

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2019

Omusumba Micheal Kyazze avuddeyo n’assa akazito ku munnaabwe Aloysius Bugingo yeekube mu kifuba yeetondere mukyala we Teddy Naluswa olw’okumuddukako ate n’amuddako n’amusensula n’atuuka n’okuggyayo obuziina bw’omu kisenge.

Kyazze 703x422

Omusumba Kyazze ne Noah Sserunjogi (ku kkono) nga boogera eri abaamawulire.

Omusumba Kyazze owa Omega Healing Center ewa Zzana ku lw’e Ntebe, ayagala okwetonda kwa Bugingo eri mukyala we Teddy akukole mu lujjudde ku kkanisa ye eya House of Prayer Ministries International nga n’omukyala waali.

“Waliwo okuddirira kunene mu maka g’abantu abamu, naye Bayibuli egamba nti ekirina okutwawukanya mu maka gaffe kwandibadde kufa, noolwekyo abantu nga Babugingo balina okutambulira ku musingi gwa Bayibuli era tulina okubaluhhamya,” Omusumba Kyazze bwe yategeezezza.

Kyazze yagambye nti kiba kikyamu omuntu naddala ali mu kiti ky’Obusumba okuddira obuziina bw’omu kisenge n’abwanika mu lujjudde olwo bo (abantu) ne batandika okubasunga n’okubateeka ku minzaani.

“Enkola efaanana bw’etyo tekoma ku kuswaza bantu abo bokka wabula n’abalokole bonna noolwekyo tusaba muganda waffe oyo yeekube mu kifuba yeetondere mukyala we ebintu biggwe kubanga omuntu gw’omaze naye emyaka egyo gyonna toyinza kumala gamujolonga bw’otyo,” Kyazze bwe yategeezezza.

Okwogera bino Omusumba Kyazze ng’ali wamu n’omumyuka we yabadde mu lukuhhaana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku Mmande akawungeezi ku kkanisa ya Omega ewa Zzana ku lw’e Ntebe.

Kyazze yagambye nti wadde akimanyi bulungi nti mu nsi muno abafumbo basobola okufuna obutakkaanya nti naye enkwata y’ensonga zammwe kikulu nnyo era esobola okuzitereeza oba okuzisajjula obusajjuzi.

“Omusumba oyo asaana kuwabulwa kubanga yabula, osanga Mukama anaafuna ekisa kye n’amukwatako n’adda ku byawandiikibwa ebituufu n’asobola okutambula obulungi,” Kyazze bwe yannyonnyodde.

Yagambye nti Bugingo asobola okuba n’obuzibu ne famire ye nti naye okubiteeka mu lujjudde ne batuuka n’okwerangira eby’omu kisenge si nkola ya muntu mugunjufu nti noolwekyo waliwo ekyetaaga okukolebwa okutaasa embeera eno ekome awo.

Wabula Kyazze yawadde omukyala amagezi nti ssinga anaalaba ng’ebintu bigaanyi, akole ekintu kimu agende mu mateeka ebintu byabwe biggweere eyo.

Kyazze yagambye nti ye ne basumba banne bategese olukuhhaana gaggadde mu kifo kino (ekya Omega) basobole okwejjukanya ku musingi n’ennono y’enjiri entuufu nga bw’esomesebwa mu Bayibuli.

“Mu lukuhhaana luno, tugenda kwogera ku bintu bingi omuli n’engeri omusumba gye yandyeyisizzaamu mu ndiga ze kubanga eriyo bangi ababuulira ekigambo ky’Obwakatonda kyokka ng’enneeyisa yaabwe bo ekontana n’enjigiriza ya Mukama waffe Yesu Kristu,” Omusumba Kyazze bwe yategeezezza.

Yagambye nti abasumba abamu beetaaga okubazzaayo babangulwe buto ku musingi n’ennono entuufu Yesu gye yayigiriza era omulokole omutuufu gy’alina okutambulirako.

Kyazze yagambye nti obuzibu bwa Bugingo kwe kubulwako mukwano gwe mu by’enjiri eyandibadde amuwabula kubanga bonna abandikikoze yabavumaavuma dda n’abeegobako.

Yagambye nti omusumba asuulawo mukazi we bwe baagattibwa empeta n’awasa omulala kiba kikolwa kya bwenzi ekisaana okuvumirirwa buli musumba akyali ku njiri n’ennono ya Bayibuli.

Omusumba Noah Sserunjogi nga naye wa Omega Healing Center yageraageranyizza enneeyisa ya Bugingo ku muntu abulamu okubangulwa mu by’omusingi n’ennono y’enjiri.

“Kibi nnyo omuntu okuba nga talina nsibuko, kiba kyetaaga omuntu oyo okuddayo ne yeenoonya ku ngeri gye yatandikamu enjiri osanga Katonda ayinza okumusaasira n’atereera,” Sserunjogi bwe yagambye.

Sserunjogi yategeezezza nti emu ku nsonga kwe basinzidde okutegeka olukuhhaana luno lwe batuumye “The Father’s heart Summit” kwe kwagala okwongera okubangula abasumba mu musingi gw’enjiri n’ennono.

Yagambye nti ssinga Bugingo abadde musajja akkiriza ensobi ye n’akkakkana ku maviivi ge n’asaba omutonzi yandibadde agenda ne yeetaba mu lukuhhaaana luno n’afunayo ekyokuyiga.

Yakubirizza abasumba abalala bonna abayinza okuba n’obuzibu bw’amaka okwekwata ennyo ku Bayibuli baleme okukwata ekkubo ekkyaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sula 220x290

Abadde yeefudde mmo okubba abagagga...

POLIISI ekutte omukazi agenda mu bbaala ne wooteeeri ez’ebbeeyi okusikiriza abasajja okumukwana oluvannyuma n’abakuba...

Theresamay 220x290

Katikkiro wa Bungereza bamukase...

KATIKKIRO wa Bungereza Theresa May ofiisi emutudde mu kifuba n’alekulira. Alangiridde nti agenda kuwaayo ofiisi...

Temya 220x290

Bba wa muwala w'omugagga Ntakke...

BBA wa muwala w’omugagga Gaster Lule Ntakke ayitibwa Arthur Kizito 44, akubye abooluganda n’emikwano encukwe bw'asangiddwa...

Genda 220x290

Maneja mu wooteeri e Seeta attiddwa...

ABANTU abatannaba kutegeerekeka bawambye abadde maneja avunaanyizibwa ku bayimbi mu kifo ekisanyukirwamu ekya MURS...

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala