TOP

Abdallah Kitatta y’ani ?

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2019

Yeegatta ku Namasumbi S.S. kyokka n’awandukira mu S.3 ng’emisomo gimuzannya nnyo naddala Olungereza, ssaayansi n’okubala.

Tata 703x422

ABDALLAH Kitatta 40, yazaalibwa mu 1979 ku kyalo Kisanjufu e Nakasajja mu ggombolola y’e Kyampisi e Mukono. Bazadde be ye Hajji. Mohammad Nangoba ne Hasifa Nabukeera. Okusoma teyakutwala wala.

Yasomerako mu Kalagala Quran School gye yava n’adda e Kitegombwa C/U gye yatuulira P7.

Yeegatta ku Namasumbi S.S. kyokka n’awandukira mu S.3 ng’emisomo gimuzannya nnyo naddala Olungereza, ssaayansi n’okubala.

Bwe yali akyali mu ssomero, ekintu kye yali akuba obudinda byali bya luwarabu, amasomo amalala gaali gamugoya bwenvu.

Wabula Kitatta agamba nti bw’agenze akula yeesanze ng’obutasoma bumufiirizza ebintu bingi era yasalawo okuddayo mu ssomero mu 2017 asobole okufuna ebbaluwa eya S.4.

KITATTA YASOOKA KWETIKKA MIGUGU NA NSAWO ZA BUWUNGA MU KISENYI

Omu ku mikwano gya Kitatta baaludde nabo yatutegeezezza nti, ng’ebyokusoma bigaanyi, yayingira ekibuga, amakanda n’agakuba mu Spire zooni mu Ndeeba.

Olw’okubanga teyalina butendeke bwonna nga ne ssente ezitandika bizinensi talina, Kitatta yamanya nti kapito gwe yalina ge maanyi ge.

Yasookera mu kwetikka buwunga mu Kisenyi gye yasanga mukyala we omukulu, Faridah Nakyanzi eyali akola nga maneja w’ekyuma ky’obuwunga.

Yakwana Nakyanzi n’amuggya gye yali n’amutwala mu Ndeeba gye baazaalira mutabani waabwe omukulu Arafa Nangoba.

Obuwunga bwe yabuvaamu, yasibira ku luguudo lw’eggaali y’omukka mu Ndeeba awaabeeranga akatale n’atandika okutikkula emigugu nga buli gwaggya ku mmotoka, bamusasula 100/-.

Yafuuka bbulooka w’abalimi abaggya emmere mu byalo ne batuuka mu katale nga bakooye ne bamuwa mmotoka n’agenda n’atunda n’abawa ezaabwe n’asigazaako enjawulo.

Ogw’okwetikka emmere, Kitatta yagukolera akabanga ng’obusente bw’afuna abusiba ku luwuzi okutuuka lwe yaweza entandikwa n’atandika okusuubula ensawo z’amatooke okulenga emyera.

Wabula amagoba ku myera gaali ga lusuluuju, era ebbanga lye yamala ng’alenga emyera ne bitatambula bulungi.

Mu Ndeeba, yakwatagana ne makanika w’emmotoka ekika kya Golf, Lauben Kibazo.

Kibazo yamuwa omulimu okubeera ddereeva we era ye yamwanjula mu bannabyabufuzi.

Yasooka kumwanjulira Muky. Ssenkungu eyali amyuka omubaka wa Pulezidenti e Lubaga. Kibazo yali munna NRM omukuukuutivu era ye yayingiza Kitatta mu NRM n’afuuka kaada n’atandika okumanya bannabyabufuzi abalala.

ENGERI GYE YAKWATAGANA NE KAYIHURA

Kitatta okufuuka ow’amaanyi, gwali mwaka gwa 2009 mu biseera by’akasambattuko akaaliwo nga Kabaka agaaniddwa okulambula essaza lye ery’e Bugerere.

Mu kavuyo akaaliwo, waliwo abantu abaayokya poliisi y’e Nateete n’ebengeya era abeebyokwerinda bwe baatandika okunoonyereza, Gen. Kale Kayihura eyali aduumira poliisi mu kiseera ekyo, yeesitula n’agenda e Nateete.

Mu bantu abaakuhhaana, Kitatta naye yali omu ku bbo era Kayihura mu kwogera nabo, yabuuza oba waliwo asobola okubawa amawulire ku baali bayokezza poliisi.

Kitatta kigambibwa nti yawanika omukono n’amugamba nti amanyi abagyokezza.

Yalina abantu be yali takwatagana nabo mu butale okuli ak’e Nalukolongo ne Busega era bano be yawaayo poliisi n’ebakwata n’e basindikibwa e Luzira olw’okwokya poliisi.

Kayihura wano we yatandikira okukolagana ne Kitatta era olwamala okukwata abantu beyali awaddeyo, yamutegeeza nti obulamu bwe bwali mu matigga n’amusaba amufunire obukuumi.

KITATTA AYINGIRA MU BYOBUFUZI

Abdullah Kitatta yatandika okumanyika mu 2006 ng’asinziira e Busega olw’okwenyigira ennyo mu nkaayana z'ettaka wamu n’akatale akali mu kitundu kino. Yamanyika nnyo mu biseera Zaina Muwonge we yabeerera RDC w’e Lubaga.

Mu biseera ebyo yali avuga mmotoka ey’ekika kya Corsa nga ya langi ya kiragala. Kitatta yeeyambisa ofiisi ya RDC okusobola okutuukiriza ebigendererwa bye naddala okukaayanira obukulembeze mu butale e Busega ne Nateete.

Mu 2008 bwe waaliwo okulonda ekifo ky'okujjuza ssentebe w’eggombolola y’e Lubaga nga Winnie Makumbi afudde, Kitatta yakola nnyo okulaba nga Peter Ssematimba owa NRM awangula ekifo kino era ne kituukirira.

Mu mbeera eno, Kitatta mwe yeesoggera ebyobufuzi bwe yeesimbawo mu kulonda kwa NRM mu 2010 n’alondebwa ku bwassentebe w’Abavubuka wakati mu mivuyo n’okulwagana n’ab’ekiwayi kye yali avuganya nakyo.

Ekifo ky’obwassentebe w’abavubuka mu Lubaga, Kitatta yakyeyambisa okumanyika mu banene mu NRM naddala ku kitebe kya NRM ku Kyaddondo Road, poliisi n’ebitongole ebikuumaddembe be yamatiza nti asobola okwahhanga aba FDC, DP n’ebibiina ebirala mu Kampala.

Mu March wa 2011, waaliwo okulonda kw’abakulembeze b’abavubuka mu Kampala okwategekebwa akakiiko k’Ebyokulonda era Kitatta y’omu ku baali beesimbyewo wabula abavubuka ne bamusimbira ekkuuli nga bagamba nti si muyigirize kimala.

KITATTA MU BODABODA

Kitatta tabangako muvuzi wa bodaboda okutuusa mu 2010, aba bodaboda bwe baafunamu obuzibu n’omuduumizi wa Poliisi, Gen. Kale Kayihura nga bawakanya ebikwekweto bya poliisi ku bodaboda omwali n’okusika bodaboda n’okuzikuba ebibaluwa.

Mu kiseera ekyo aba bodaboda baali beegattira mu kibiina ekya KUBOCA ekyawakanya ennyo ebikwekweto bya poliisi era ekyava mu kino be bakulembeze b’ekibiina kino okutulugunyizibwa poliisi n’abamu ne bakwatibwa.

Olw’okuba Kitatta yali amaze okumatiza poliisi n’abamu ku ba NRM nti aba bodaboda abasinga mu Kampala ba Besigye, DP, n’ebibiina ebiwakanya Gavumenti, embeera eyaliwo wakati wa poliisi ne KUBOCA baagyeyambisa okuwera ekibiina ne bassaawo ekibiina kya Bodaboda 2010 ne bategeka okulonda kw’aba bodaboda okw’ekimpatiira.

Wano Kitatta we yayingirira mu mulimu guno era ofiisi za Bodaboda 2010, Gen. Kayihura ye yaziggulawo e Nakulabye .

Kitatta yatondawo SACCO gye yayita ey’ababodaboda Pulezidenti Museveni yatongoza Bodaboda 2010 n’abawa obukadde 500 ez’okuyamba aba bodaboda okugulamu pikipiki era pulojekiti eno yakwanaganyizibwa omuyambi wa Pulezidenti Moses Byaruhanga.

Kyokka aba bodaboda ab’enjawulo mu Kampala bagamba nti ssente za SACCO obukadde 200 n’eza bodaboda obukadde 500 tebaaziganyulwamu era Kitatta baamuwawaabira ku poliisi.

N’ensonga ze zimu ziri mu Palamenti, Byaruhanga gye yayitibwa ababaka ne bamukunya olwa ssente ezo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...