TOP

Kitatta bamwongeddeko emisango emirala 48

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2019

KITATTA olwamaze okumusalira ekibonerezo eky’okusibwa emyaka kkumi ne batoolako ebbanga ly’amaze mu kkomera ne wasigala munaana, abaatulugunyizibwa ne bakuba enkanda wansi!

Tito 703x422

Abdallah Kitatta

Battukizza emisango 48 gye baamuggulako era baasazeewo gigende mu kkooti nagyo agiwoze.

Balumiriza nti Kitatta n’akabinja ka Boda Boda 2010 baabatulugunya era fayiro 48 weeziri zonna nga baagala avunaanibwe emisango egyo gumu ku gumu ng’ali wamu ne banne be yali akola nabo mu kabinja ako akaawagirwanga ennyo poliisi ku mulembe gwa Gen. Kale Kayihura.

Bonna be baakolako effujjo nga Kitatta ye muyima wa Bodaboda 2010 omuli abaakubwa n’abaatwalibwako pikipiki zaabwe baalaze obutali bumativu ku kibonerezo nga bagamba nti kitono nnyo bw’ogeraageranya ebikolobero ebyakolebwa Kitatta ne banne.

Egisinga ku misango gino gya kukuba n’okutuusa ebisago ku bantu, okutwala pikipiki z’abantu mu ngeri emenya amateeka, okubasibira mu buduukulu obutali mu mateeka, okutuusa obulemu ku bantu n’emirala.

Abasinga ku baggulawo emisango gino baali mu bibiina ebyali bivuganya ne Bodaboda 2010 ekya Kitatta, kw’ossa n’abo abaakwatibwanga nga bavuga bodaboda naye nga tebalina kaadi ya Boda Boda 2010.

John Semuju ssentebe w’ekibiina kya Kampala Metropolitan Bodaboda Entrepreneurs (KAMBE) akigenda okuvunaana Kitatta ne banne annyonyola; Ekisooka ndi omu ku baakubwa obubi ennyo era nasigaza enkovu ku nkoona gye ntunulako buli kiseera ne nzijukiza effujjo lya Kitatta ne banne.

Gwali mwaka gwa 2017 nnali ndi ku ofiisi ya KAMBE e Makindye okuliraana poliisi ku makya ng’enda okulaba ekibinja ky’abavubuka abakutte payipu n’ejjambiya nga basalako ofiisi.

Bwe baatuuka bajja banoonya nze kubanga nnawulira nga boogera erinnya lyange naye baali tebammanyi.

Omu bwe yandaba eyali ammanyi kye yava agamba nti “y’oyo’ kwe kusalawo nziruke. Nnali mpeta ensonda ya ofiisi ne mpulira ekinkuba ku nkoona, saamanya oba yali jjambiya oba katayimba naye nnawunga buwunzi.

Ekyannyamba nnali ntuuse ku mulyango gw’ennyumba ya Landiroodi ne ngyesogga era amangu ago abaali mu nju munda ne bagiggala; kwe kuwona. Oluvannyuma natwalibwa mu ddwaaliro.

Bano olwamala okunkuba baayonoona buli kye baasanga ku ofiisi omwali kompyuta ze baakubaakuba, fayiro ne baziggyayo nga bwe bakasuka ebweru, omuwala gwe nnali naye mu ofiisi ayitibwa Noeline Mukisa n’omuvubuka Muhamood Mayanja nabo baabakuba ne baboogoloza olwamala ne bagenda.

Wadde poliisi eri kumpi awo e Kibuye, kyagitwalira eddakiika ezisoba mu 30 okujja wadde twali

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

kolaVision Group etegese omudaala...

OLWALEERO kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde etegese olukung'aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa...

Chelsealampard 220x290

Chelsea eswamye Lampard

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala

Funa1 220x290

Engeri abakola mu bbanka gye babba...

POLIISI mu kubuuliriza kwayo ku mukozi wa Barclays Bank, Nashiba Naiga agambibwa okubba obukadde 190 ku akawunta...

Sula 220x290

Abadde yeefudde mmo okubba abagagga...

POLIISI ekutte omukazi agenda mu bbaala ne wooteeeri ez’ebbeeyi okusikiriza abasajja okumukwana oluvannyuma n’abakuba...

Theresamay 220x290

Katikkiro wa Bungereza bamukase...

KATIKKIRO wa Bungereza Theresa May ofiisi emutudde mu kifuba n’alekulira. Alangiridde nti agenda kuwaayo ofiisi...