TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Arinaitwe eyali mbega wa ISO bamukukunudde Ghana

Arinaitwe eyali mbega wa ISO bamukukunudde Ghana

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2019

Arinaitwe yava mu Uganda ng’alina abamu ku bakungu mu Gavumenti be yali agugulana nabo ng’abalumiriza okwagala okumutta olwa bwino gw’abalinako.

Issafurahaarinaitwenedayirekitawaisocolfrankkakabagyenda 703x422

Issa Furaha Arinaitwe (ku ddyo) ne Dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda.

EYALI mbega w’ekitongole ky’amagye ekikessi, Issa Furaha Arinaitwe eyali yadduka mu ggwanga bamukukunudde Ghana gy’abadde asinziira okukolagana ne Dr. Aggrey Kiyingi eyeekwese mu Australia gy’agambibwa okusinziira okuyeekera eggwanga.

Furaha yava mu Uganda ng’alina abamu ku bakungu mu Gavumenti be yali agugulana nabo ng’abalumiriza okwagala okumutta olwa bwino gw’abalinako.

Ono yawandiikira Pulezidenti Museveni ebbaluwa mwe yamuteera amannya g’abantu be yali alumiriza okwagala okumutta, okukola ebikolobero ku Gavumenti ya Uganda olwo n’adduka mu ggwanga.

Okuva lwe yava mu Uganda, abadde yeekukumye Ghana gy’abadde asinziira okukunga Bannayuganda ng’akolagana ne Dr. Aggrey Kiyingi okutabangula Uganda.

Ekitongole ekiketta munda mu ggwanga ekya Internal Security Organization (ISO) bwe kyazuula nti Furaha yeekukumye Ghana era waliwo kye yali apanga ne Dr. Kiyingi, kyasalawo okutandika okwogerezeganya naye okumuzza mu Uganda.

Dayirekita Genero wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda yagambye nti, Furaha baamukomezzaawo mu Uganda kubanga Bannayuganda bonna gye bali nga balina obutakkaanya ne Gavumenti, balina okukomawo balabe engeri gye bagonjoolamu obutakkaanya bwe balina.

Yagambye nti, baakakomyawo abantu basatu ababadde bayeekera Gavumenti ebweru w’eggwanga okuva omwaka lwe gwatandika era bali mu kaweefube okulaba nga n’abalala bonna babakomyawo bateese ne Gavaumenti baweebwe ekisonyiwo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab1 220x290

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa...

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa nnyina n'azirika

Sab1 220x290

Ababadde bagufudde omuze okubba...

Ababadde bagufudde omuze okubba mukama waabwe kkamera zibakutte

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...