TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnaalongo wa Kibuule kimuyitiriddeko n'atema omulanga: "Katonda wange! Kiki kino? Onanzeeki ayi Mukama okufiirwa abaana ababiri olumu?''

Nnaalongo wa Kibuule kimuyitiriddeko n'atema omulanga: "Katonda wange! Kiki kino? Onanzeeki ayi Mukama okufiirwa abaana ababiri olumu?''

By Henry Nsubuga

Added 15th May 2019

Mukyala wa minisita Ronald Kibuule yatemye omulanga: Katonda wange! Kiki kino? Onanzeeki ayi Mukama okufiirwa abaana ababiri olumu? Olwo emirambo gy’abalongo Rayden Kato ne Raymond Wasswa gyabadde gituusiddwa mu maka ga Kibuule e Mbalala - Mukono ku lw’e Jinja eggulo.

Wanga1 703x422

Amaka ga Kibuule n’ekidiba abalongo mu katono mwe baafiiridde.

Gyaggyiddwa Mulago oluvannyuma lw’abaana okugwa mu kidiba ekiwugirwamu ne bafiiramu mu maka ga Kibuule ku Mmande akawungeezi.

Nnaalongo Fortunate Alindinda Kibuule bakira asiriikirizaamu okukaaba ng’eno abakungubazi bwe bamusaasira, ate n’atulika lumu n’addamu okukaaba nga bw’awanjaga.

“Ndabye n’abaana bange okufa obubi batyo. Kiki kino?”, bye bimu ku bigambo bye yayogedde era bakira Oluganda alutabikamu Orunyankore.

Abantu bangi okuli omumyuka wa Pulezidenti Edward Ssekandi, baminisita n’ebikonge ebirala baagenze okusaasira Kibuule.

Ng’ayogera eri abakungubazi, Kibuule naye eyasoose okusoberwa era ng’ekiseera kituuka n’anafuwa n’akulukusa amaziga, yasabye okumusabira ne famire ye. Okwogera kwe yakutabiseemu ebigambo ebigumya ate n’okusesa abantu.

Okugeza yagambye: Munsabire Katonda addemu ankukubagize n’ekirabo ky’abalongo abalala.

N’ajjukiza: Abalongo bano nabo nnabasaba mu lwatu, era bannaddiini bangi ne bansabira okwali n’Omulabirizi w’e Mukono, James William Ssebaggala(naye yabaddewo) era Katonda n’abampa.

“Sirina kirala kye nnakola okuggyako okusaba era Katonda yakkiriza n’ampa abalongo.

Eryo lyali ssanyu lya maanyi lye nnafuna naye eky’ennaku Katonda abatutte nga bakyali bato. Nsaba era nnina okukkiriza nti Katonda ajja kumpa abalala,” bwe yategeezezza.

“Olw’okuba nkimanyi nti bagenze mu Ggulu, ng’enda kukola nnyo emirimu gya Katonda era nja kwongera okudda eri Katonda okuva ne leero, kubanga ly’essuubi lyokka lye nnina okuddamu okusisinkana abaana bano mu Ggulu,” bwe yagambye.

Abaana bafiiridde ku myaka ebiri n’ekitundu. Ebyabaddewo ku Mmande lweBabadde basinga kwagala kubavuga mu mmotoka.

Nnabalese bakaaba ku makya kubanga saabavuze mu mmotoka. Nnabadde nneeyuna lukiiko lwa kabineti.

Nnabadde mu kkubo nga ssinnatuuka mu kabineti, Nnaalongo n’ankubira nti abaana bakaaba, wabula oluvannyuma nnazzeemu ne njogera naye n’antegeeza nti baabadde basirise. Ntera nnyo okukuba ewaka essimu ne njogera n’abaana bonna ne bwe mbeera ebweru w’eggwanga.

Kyewuunyisa nti olwaleero nnamazeeko olunaku nga ndi mu kabineti era saayogeddeko nabo.

Ku ssaawa nga 11:30 ez’olweggulo bankubidde essimu, naye nga tebambuulira mazima ne bang'amba nga abalongo bwe baabadde batwaliddwa mu ddwaaliro lya Sir Albert Cook.

Nnavuze emmotoka mangu ne ntuuka mu ddwaaliro. Dokita n’akantema nti abaana babatuusizzaayo nga bamaze okufa.

Ne Nnaalongo naye awaka teyabaddewo g’agenzeeko e Namataba nga naye amawulire gano gye gaamusanze.

Muganda wa Kibuule ayitibwa Kato nga y’omu ku baasoose okulaba abaana mu kidiba yagambye nti, okutuuka awaka yavudde Namataba gye yalese Nnaalongo, nga bwe yatuuse awaka n’abuuza abakozi ababiri be yasanze mu ffumbiro wa abaana gye bali?

Baamutegeezezza nti abaana abakulu waliwo eyabadde abatutte, kyokka bwe yabuuzizza abalongo gye bali olwo n’abakozi ne balyoka bajjukira.

“Mu kwetoloola okubanonyaako, twabasanze bali ku mazzi mu swimming pool batengejja. Twabannyuluddeyo ne mbaddusa mu ddwaaliro e Mukono naye nga kirabika baabadde baafudde dda”, bwe yategeezezza.

Ssekandi yasaasidde Kibuule ne Nnaalongo olw’ekikangabwa kino n’agamba nti kyannaku olumbe okulekawo abakulu abakaddiye abali eyo mu myaka 90 ne lutta abaana abato.

Yagambye nti olw’okuba Katonda yabadde atuusizza okubatwala, kyabadde kizibu okubatangira ng’obudde bwabwe obugenda butuuse.

Minisita avunaanyizibwa ku byenjigiriza mu matendekero agaawaggulu, J.C Muyingo yagambye nti kano kaabadde kabenje akatalina muntu ayinza kunenyezebwa.

Omulabirizi w’e Mukono, James William Ssebaggala yakulembeddemu okusaba n’agamba nti abalongo bano si be baasoose okugwa mu ‘swimming pool’.

Abalala bangi bazze bagwamu, n’awa amagezi abazadde abalina ebidiba okubizimbako olukomera.

N’agamba nti abantu basaanidde okukimanya nti Katonda ye kamala byonna n’awa ekyokulabirako ky’abaana bano nti wadde nga baabadde na buli kimu kye beetaaga, baafudde mu ngeri ey’ekyekango ennyo.

Ate Sheikh Sulaiman Lubega Guggwa yalabudde Kibuule okwewala abantu abagenda okumuwabya nga bamugamba kino na kiri nga bawanuuza ku baana abalongo nga bwe balina okukolebwako emikolo guno na guli n’agamba nti ebyo tasaanidde kubyesembereza. N’awabula emikolo gy’okuziika agiyise mu ddiini.

Baziikibwa leero ku Lwokusatu ku kyalo Kapeke mu ggombolola y’e Nama e Mukono mu maka ga taata wa Kibuule, Zephania Lusebeya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sula 220x290

Abadde yeefudde mmo okubba abagagga...

POLIISI ekutte omukazi agenda mu bbaala ne wooteeeri ez’ebbeeyi okusikiriza abasajja okumukwana oluvannyuma n’abakuba...

Theresamay 220x290

Katikkiro wa Bungereza bamukase...

KATIKKIRO wa Bungereza Theresa May ofiisi emutudde mu kifuba n’alekulira. Alangiridde nti agenda kuwaayo ofiisi...

Temya 220x290

Bba wa muwala w'omugagga Ntakke...

BBA wa muwala w’omugagga Gaster Lule Ntakke ayitibwa Arthur Kizito 44, akubye abooluganda n’emikwano encukwe bw'asangiddwa...

Genda 220x290

Maneja mu wooteeri e Seeta attiddwa...

ABANTU abatannaba kutegeerekeka bawambye abadde maneja avunaanyizibwa ku bayimbi mu kifo ekisanyukirwamu ekya MURS...

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala