TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mukyala wa Polof. Bukenya amututte mu kkooti baawukane

Mukyala wa Polof. Bukenya amututte mu kkooti baawukane

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2019

Dr. Margaret Bukenya agamba nti obufumbo bwabwe bwatandika okuyuuga olw’obwenzi bwa polofeesa Bukenya era ng’amaka ge Gilbert Bukenya yagavaamu dda ag’e Ntinda takyagasulamu.

Bukenya 703x422

Polof. Bukenya ne mukyala we Dr. Margaret Bukenya.

BYA ANNET NALUGWA

POLOFEESA Gilbert Balibaseka Bukenya, mukyala we ow’empeta Dr. Margaret Mary Musoke Bukenya amututte mu kkooti n’agisaba ebaawukanye ng’amulumiriza obutayisa sikaati.

Dr. Margaret Bukenya omutuuze w’e Ntinda mu Minister’s Village omusango guno yagututte mu kkooti enkulu etawulula enkaayana z’abafumbo ku fayiro nnamba DC 069/2019 era ayise mu bannamateeka be aba Ligomarc Advocates n’aloopa Polof. Gilbert Bukenya omutuuze we Garuga, Wakiso.

Mukyala Bukenya agamba nti baagattibwa mu bufumbo  obutukuvu nga September 21, 1974 ku St. Augustine Chapel ku yunivasite e Makerere era olwamala okugattibwa basulako mu ddwaaliro e Mulago n’erye Mbale bombi gye baali bakolera ng’abasawo.

Wakati wa 1977 ne 1990 baagenda e Nairobi Kenya olwo ne baagenda ne Papua New Guinea oluvannyuma baakomawo mu Uganda ne basula mu yunivasite y’e Makerere. Era mu 1992 ne bazimba amaka gaabwe agasangibwa e Ntinda mu Minister’s Village.

Era mu mpaaba eno ayongerako baazaala abaana basatu okuli Richard Mutawonga Bukenya 45, Georgina Nabukenya Bukenya 42 ne Gilbert Roy Bukenya Kamoga 37. Agamba nti obufumbo bwabwe bwatandika okuyuuga olw’obwenzi bwa polofesa Bukenya era ng’amaka ge Gilbert Bukenya yagavaamu dda ag’e Ntinda takyagasulamu.

ABAKAZI ABALEETEDDE MUKYALA BUKENYA OKUSABA OKWAWUKANA NE BBA

  1. Mukyala Bukenya agamba nti yatuuka n’okwagala Cissy Namujju omu ku bakunzi ba b’abawagizi mu ofiisi y’amyuka pulezidenti n’amuzaalamu omwana omu ow’emyaka 10.
  2. Ate mu 2008 yatandika okwagala eyali omukozi we mu ofiisi y’obumyuka bwa pulezidenti nga ye Shony Batanda ng’ono yamuzaalamu omwana wa myaka 8.
  3. Mu gye 2000 nga gitandika bba era yayenda ku Margaret Kabasinguzi Nyabongo Akiiki ng’ono yali omu ku bamunoonyeza obululu n’okukunga abantu mu Busiro North nga yamuzaalamu omwana omu era n’amuzimbira e Fortportal.
  4. Akikkaatiriza nti Gilbert Bukenya obwenzi bumususse era yabutandiika mu 1982/83 bwe yayenda ku Teddy Ndagire nga bano bazaala omwana omu, omugenzi Capt. Brian Bukenya.
  5. Mu gye 1990 nga giggwaako Polof. Bukenya yakwana omugenzi Stella Njuba ng’ono yamuzaala abaana babiri era n’amuzimbira amaka e Bunnamwaya.
  6. Mu 2004 Bukenya yayagala Jamila Nakku ng’ono abeera mu maka agasangibwa e Naggulu, Lwantama. Ng’ono amulumirizza n’okumwanjula mu bakadde be.
  7.  Wakati wa 2014 ne 2015 Gilbert Bukenya yayagala Justine Najjemba nga yamuzaalamu omwana wa myaka 4 era alina amaka e Namayumba Wakiso.
  8. Gilbert Balibaseka Bukenya era ayagala Josephine Nakafu akola ng’omuyambi mu ofiisi ye  gy’ataayogedde mannya kuno yagasseeko abalala Bukenya be yakolako obwenzi okuli omuyimbi Irene Namubiru n’Omumbejja Sheila Nvanungi n’abalala nga bino bimuleetedde  okuswala mu maaso g’abantu. Kkopi z’amawulire eziraga ebimu ku bino nazo eziwaddeko kkooti.

Mukyala Bukenya agamba nti obwenzi buno ye kennyini abwerabiddeko nga ne bw’amugamba yagaana okukyusa mu mbeera ze.

Mukyala  Bukenya  ayongerako nti mu October wa 2011 yaggyako mu maka gaabwe okusobola okwetaba mu kusaba bwe baali baakayimbula Polof. Gilbert Bukenya okuva mu kkomera e Luzira. Era okuva mu July 2012 amaka g’e Ntinda yagasuulawo dda era takyabawa buyambi nga n’abakuumi abaali bateereddwaawo okukuuma eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga baavaawo dda olw’obutafuna mmere yaakulya n’ebirala.

Yamuteekako ebiragiro obutalinnya mu maka agasangibwa e Naggulu Lwantama agasangibwa e Busiro ku bbuloka 233 poloti 7 kati emyaka 10, agendayo nga bamuyise ku mikolo.

Amuswazizza nnyo nga kati emyaka 10 yagenda mu maka amalala agasangibwa e Garuga Katomi gy’akolera obubaga okuli akabaga ka bikini n’okuyita ba sereebu ab’enjawulo  nga bino byonna  bimuleetedde okusalawo baawukane.

Ensonga eno yatuukako mu kkanisa aba famire n’ab’ekika ne bagezaako okubatabaganya kyokka byalema.  Mukyala Bukenya agamba nti baagatta wamu ssente ze yafuna bwe yali akola mu Save the children Fund, AMREF, Mmwanamugimu ne basomesa abaana n’okufuna eby’obugagga bino:

  • Ettaka eririmu n’ebizimbe erisangibwa ku poloti 10 Muwafu road ne poloti 9 Martyrs road e Ntinda era wano we wasangibwa amaka gaabwe.
  • Poloti n’ekizimbe ebisangibwa e Kakiri nga kuno aba bbanka ya Post be bakipangisaako
  • Ettaka erisangibwa e Garuga/ Katomi okuli n’ebyazimbibwako.
  • Amaka ne ffaamu ebisangibwa e Busiro bbulooka 233 poloti 7 ettaka erisangibwa e Naggulu Lwantama Kakiri.
  • Poloti n’ekizimbe ebisangibwa e Kakiri nga kuno kuliko Francisca Clinic.
  • Kati asaba kkooti ebaawukanye, bagabane ebintu bye bakoze ababiri buli omu afune kyenkanyi. Polof. Bukenya bamuwadde ennaku 15 zokka okuwaayo okwewozaako kwe singa alemererwa kkooti  yaakusalawo omusango nga taliiwo.

 

GILBERT BUKENYA Y’ANI?

Gilbert Balibaseka Bukenya yaliko omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga okuva nga May 23, 2003 okutuuka nga May 23, 2011.

Ng’ayitira mu kibiina kya  NRM  yafuuka omubaka  wa palamenti ow’e Busiro North  okuva mu 1996. Yazaalibwa nga August 5, 1949 nga mu kiseera kino wa myaka 69. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sula 220x290

Abadde yeefudde mmo okubba abagagga...

POLIISI ekutte omukazi agenda mu bbaala ne wooteeeri ez’ebbeeyi okusikiriza abasajja okumukwana oluvannyuma n’abakuba...

Theresamay 220x290

Katikkiro wa Bungereza bamukase...

KATIKKIRO wa Bungereza Theresa May ofiisi emutudde mu kifuba n’alekulira. Alangiridde nti agenda kuwaayo ofiisi...

Temya 220x290

Bba wa muwala w'omugagga Ntakke...

BBA wa muwala w’omugagga Gaster Lule Ntakke ayitibwa Arthur Kizito 44, akubye abooluganda n’emikwano encukwe bw'asangiddwa...

Genda 220x290

Maneja mu wooteeri e Seeta attiddwa...

ABANTU abatannaba kutegeerekeka bawambye abadde maneja avunaanyizibwa ku bayimbi mu kifo ekisanyukirwamu ekya MURS...

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala