TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazigu balondodde owa Mobile Money n'abalema ne battamu omuyizi wa University

Abazigu balondodde owa Mobile Money n'abalema ne battamu omuyizi wa University

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2019

Abazigu balondodde owa Mobile Money n'abalema ne battamu omuyizi wa University

Hot2 703x422

Maama w'omwana eyatiddwa ng'aakab olw'okufiirwa omwana we

ABAZIGU b’emmundu balondodde omusuubuzi wa ‘Mobile Money’ okuva mu Kisenyi mu Kampala wakati okutuuka e Lungujja Kitunzi gy’asula wabula bamaliriza nga basseemu muyizi wa yunivasite ya Nkozi eyabadde akola ebibuuzo bye ebisembayo.

Rafael  Walugembe 23, abadde asoma diguli mu by’obusuubuzi mu yunivasite y’e Uganda Martyr’s Nkozi ng’ abadde  abuzaayo ekibuuzo kimu kyabadde alina okukola ku mmande y'akubiddwa amasasi abazigu abazze balondoola omusuubuzi Denis Kigongo Mwesigwa owa ‘Mobile Money’ n’ekigendererwa eky’okumunyagulula.

 mwana eyattiddwa Omwana eyattiddwa

Maama w’omugenzi Nnalongo Mary Zzimbe , Ow’e Lungujja Kitunzi mu Church zooni, ategeezezza nti zabadde ziwera ssaawa 4:23 ez’ekiro nga balaba amawulire ga Bukedde TV.

Mutabani we, ono Walugembe bweyamaze okulya nasalawo okufuluma ennyumba ng’aweese ensawo ye okugenda okusuza mu nnyumba ya mwanyina eyalongooseddwa ng’azaala era yagenze okufuluma bwati nagenze okuwulira ebyasi nga bivuga.

“Natiiriddewo ne ngamba nti ebyasi bino ebivugira awaka ng’omwana wange yakafuluma batwagazaaki? Oba bamusse . Napapye okufuluma okuggulawo buli luggi nga lusiibe” Bwatyo Nnalongo Zzimbe bweyategeezeza.

Yayongeddeko nti amangu ddala yalabye ekyasi nga kiyita mu luggi lwe ndabirwamu weyabadde ne manya nti basse omwana wange nakoze ekisoboka okufulama amangu nga mpulira waliwo n’omuntu ampita nzigulewo ne nsalawo mu kifo ky’okutta omwana wange battemu  nze okutuuka wabweru nga bamukubye amasaasi agudde wansi avamu omusaayi muyittirivu ne ntandiika okuwanjaga okulaba abamuntwalira mu ddwaaliro tutaase obulamu.

Nakitegedde luvannyuma  nti abazigu abasse omwana wange baabadde balina omusuubuzi gwe bazze balondoola era nga babadde bamubbira mu luggya  lwange wabula bwebalabye omwana wange ng’afuluma ate nga yabadde ayambadde ensawo erimu ebitabbo ku mugongo ne bamwekengera ne bamukuba ebyasi ebyamutiddewo

Omugenzi Walugembe bamukubye ebyasi mu nkwawa , mu bulago ne mu kifuba ebyamutiddewo era poliisi yagenze okutuuka mu ddakiika nga kkuumi lyokka nga yafudde dda.

OMUSUUBUZI MWESIGWA ANNYONNYODDE: Denis  Kigongo Mwesigwa agamba nti yavudde mu kibuga ku ssawa nga 3:00 ez’ekiro ng’ali mu mmotoka ye , ekika kya Spacio ng’alimu ne mukyala we n’abaana baabwe babbiri wabula yabadde akyama awaka nasanga mmotoka eva ng’ewuuwe.

“Bankubye amattaala nga bandaga nti baagala kumpitako ng’ate wafunda. Nasazeewo okubaviira ne nyambukaako katono ewa Nnalongo Zzimbe mu luggya, wabula bavuddemu mangu mu mmotoka abasajja nga bana nga ne mabega eriyo pikipiki ne banteekaako emmundu ku mutwe  ne bansaba ssente zonna zenina nzibaawe” Bwatyo Mwesigwa bweyategeezezza.

Amangu ddala nabawadde 400,000/- zenabadde nazzo mu nsawo gattako eza  mukyala wange 210,000/- ze yabadde alina ne batwala ne ssimu zaffe n’ebirala era obunyazi buno bwatutte eddakika nga kkuumi zokka ne bagenda emmotoka yo tebagitutte.

Nagenze okuva ku ttaka kwebabadde bandagidde ngalamire nga ndaba Nnalongo Zzimbe n’ab’omu nnyumba ye balajaana nti basse Walugembe okwetegereza ng’amasaasi obwedda ge bakuba geegasse omwana waffe.

MAAMA W’OMUGENZI NNALONGO ZZIMBE ATABUKIDDE AB’EBYOKWERINDA.

“Ssebo  afande Byansi nkwebaza okutuuka amangu ng’abazigu bakatta omwana wange okugezaako okumutaasa naye mbuuza emmundu ezitta abantu ezivuga omusinde bweguti eziraagira ddaala nti za gavumenti bani abazirina? Era ssebo gwe owamaggye Maj. Sulait gwe ndaba wano aba LDU bemwaleese okutukuuma babaddewa ? Olowooza si beebapangisa abazigu emmundu zino empya ze mwabawadde ng’ate bavvu bazibu” Bwatyo Nnalongo Zzimbe bweyabuuzizza.

Yayongeddeko nti ekirungi tusula kumpi n’ekubbo njagala mutulage ebifaananyi bya kkamera ze mwatuletera mu kitundu tuzuule abasse omwana wange ku bwereere.

LOODI MEEYA LUKWAGO : Bweyakunyiza akulira poliisi y’e Nateete Mohammed Byansi bagende bakebeere kkamera bazuule abatemu bagenze okukizuula nga ku kyalo kyonna Lungujja Kitunzi tekuli kkamera n’emu era nga bakirambudde okukakkasa nga kituufu tekuli

Omumyuka wa Pulezidenti Edward Ssekandi naye asula okumpi ne webasse Walugembe yatuusewo nasaasira abafiirwa nabaawa n’amabugo gattako  omubaka Moses Kasibante  ne Joseph Mabirizi eyavuganya ku bwa pulezident.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.