TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi yaffe ey'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okugaggawala ng'olimye akaddo ka Rosemary

Leero mu mboozi yaffe ey'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okugaggawala ng'olimye akaddo ka Rosemary

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2019

Leero mu mboozi yaffe ey'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okugaggawala ng'olimye akaddo ka Rosemary

Lab2 703x422

Omumyuka wa Katikkiro wa Buganda Kawaase (ku kkono) ng’akwasa mukyala Saidat Tamusuza ekyuma Julius Nyanzi (owookubiri ku ddyo) kye yawaddeyo.

BA Pro Bio Research tutera okuyiiyiza Bannayuganda ebintu ebibazimba n’okubatwala mu maaso, era enkuba bw’etandika tutera okubalaga ebirime bye musobola okulima ne mufuna ssente.

Nga bwe kyali omwaka oguwedde abaalima kalittunsi ow’ekyewuunyo owa Lemon mwafunamu era akyaliwo ate avaamu obuloosa obugoba ensiri n’amajaani g’oteeka ku ccaayi okulongoosa mu mubiri naddala ku balina sukaali n’abasnanyalala.

Ate n’abaalima Flax mwafuna n’omukisa gukyaliwo abakyalina enteekateeka emulima. Weetaaga omukebe gumu gwa 10,000 bw’ogusimba mu yiika ofunamu kkiro 200 oluvannyuma lw’emyezi ena kitegeeza ojja kufunamu 20,000/- buli kkiro kuba ffe aba Prof Bio tumugula era ofuna obukadde buna mu myezi ena. Osobola okujja ku Prof Bio Research ne tukufunira ensigo za flax olw’emigaso gy’alina n’ebirungo bya Omega 3 ne Omega 6 ebisangibwa mu byennyanja.

Olwaleero njagala twogere ku nteekateeka empya ey’okulima akaddo aka Rosemary. Rose- Maria abantu abasinga mukamanyi nga kakulira ku ttaka erimyufu oba ery’eddungu, abamu mukateeka ku ccaayi, abamu mu muceere ate abamu munonooza nti kazimba obwongo.

Kituufu kalimu ekirungo ekya acetylcholine ekiyamba okuzimba obwon-go omuntu n’aba nga teyeerabira mangu okuziyiza endwadde ng’ez’okwerabira za Alzheimer’s ne dementia. Olwaleero twogere ku rosemary nga bizinensi nti mu nkuba eno n’ensangi zino ng’ebyobulimi bidobonkanye, ababbi n’ebiwuka ebirumba ebirime nga tosobola kulima kasooli n’otamufuuyira ate ng’eddagala lye tukozesa lyonoona ettaka.

Ffe we tuviiriddeyo okulaba nga tuyamba ku Bannayuganda okulima ebimera ebipya ebitabbibwa, ebitalwala ebiteetaaga bigimusa ne rosemary mw’omutwalidde. Rosemery wa byafaayo ne Shakespeare amwogerako nti ayamba okujjukira era yamuyita ‘herb of remembrance’. Noolwekyo abasomi baffe abagoberera emboozi z’omukenkufu olwaleero njagala twettanire mu bizinensi eno eya RoseMary mu ngeri ey’enjuwulo kubanga ffe akatale tekatubulangako.

Muve mu ndowooza egamba nti emirimu mizibu wabula kirungi okugattako omutindo. Mu nteekateeka ey’okugattako omutindo tuvuddeyo n’enkola nti omuntu bw’anaasimbanga yiika 10 eza rosemary nga tumuwadde ekika ekivaamu akaloosa akaamaanyi tugenda kumuwa ekyuma ekinaamuyambako okukamula era bw’anaaleetanga amakungula nga twebala mpola okutuusa ssente lwe zinagwayo olwo atandike okufuna amagoba.

Tutunuulidde yiika 10 kubanga twagala abantu abalima mu nnima ey’obuwangaazi si bano abanoonya emmere ya leero newankubadde nga nabo tubaaniriza naye ekyenjawulo ekiriwo bo ekyuma bajja kukyegulira.

Bwe tuba tutunuulidde ennima ya rosemary ono tugenda kuteeka endokwa 1,000 mu yiika ekirungi taboola ttaka. Abalina erimyufu, ery’olunnyo, eririmu asidi omungi, ery’ekisenyi ery’olusozi wonna akulirawo ate taliibwa buwuka, tayonoona ttaka, teyeetaaga bigimusa, n’okumufuuyira kubanga talwala.

Bw’oteeka endokwa 1,000 mu yiika amabanga ne bwoleka ffuuti emu akwata ate ekirungi takkiriza muddo kukulamu noolwekyo togenda kubeera awo ng’omukoola. Oluvannyuma lw’emyezi mukaaga obeera okungula era bw’onaamala okukungula tujja kukuwa ekyuma ekimukamula era nga tukugamba nti bw’osimbira yiika 10 nga ffe tukuwa ekyuma ekimukamula n’otuleetera amakungula go agabutto oba akaloosa ka rosemary. Yiika emu ejja kutuwa liita 20 era buli liita ey’akaloosa ka rosemary tugigula emitwalo 30 ekitegeeza buli yiika ejja kukuwa obukadde mukaaga.

Bw’oba osimbye yiika 10 ojja kufuna obukadde 60 mu makungula agasooka, agookubiri obukadde 60 omwaka obukadde 120. Abatamanyi kukozesa kyuma tujja kukolagana nabo tubayigirize bwe kikola ate n’otuguza, liita tugigula 30 kitegeeza liita 20 ofuna obukadde mukaaga mu yiika.

Akatale si kizibu kuba tulina amakolero agakola ssabbuuni n’ebizigo aba masaagi, Sauna n’ensi yonna kuba nabadde ne mu palamenti ya Amerika eya Agoa nga bansaba obuloosa buno. Obuloosa buno tebwonooneka omuntu ayinza okwesiiga Rosemary mu kyenyi omutwe ne guwona, bugoba olusu, okubunaaza embwa zaabwe naddala abazungu okugoba enkwa n’obusowera.

Abawalabu bakateeka mu masinzizo gaabwe ne mu muceere ate bw’oba omukungudde addamu n’aloka toddamu kusaasaanya ku ndokwa era osigala mu katale kuba asobola okuwangaala emyaka 10 n’okusingawo. Bannayuganda muve mu kulowooleza mu kulima emmere yokka naye tugatteko ebirime nga bino.

Mujje ku prof bio research ku equatorial mall ekisenge nnamba 152 mwongere okumanya ku nteekateeka eya rosemary mw’onowangulira ekyuma abaana n’abazzukulu kye balikozesa tusobole okufaananako Abayindi oba kkampuni ez’amaanyi eza sukaali bajja wano naye baana n’abazzukulu be baganyuddwa.

Era tukirabye ku ba Madivan, Mukwano, Metha, tulina okutandika ennima eyo ey’okutunuulira ebiseera ebijja si bya leero yokka. Emmere tugirime tugirye awaka naye tugatteko bino ebirime ebipya ebitabbibwa ebitalwala ebisobola okutuyamba okwongera ku nfuna yaffe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi