TOP

Aba LDU babaloopye lwa kusabiriza bantu ssente

By Muwanga Kakooza

Added 16th May 2019

GAVUMENTI erabudde aba LDU obutettantala kusiiwuuka mpisa ng’egamba nti anaakwatibwako ajja kuvunaanirwanga mu kkooti y’amagye.

Bafa 703x422

GAVUMENTI erabudde aba LDU obutetantala kusiiwuuka mpisa ng’egamba nti anaakwatibwako ajja kuvunaanirwanga  mu kkooti y’amagye.

 Gavumenti era evuddeyo ku bigambibwa nti abamu ku ba LDU batandise okusaba abantu ssente naddala be basanga batambula ekiro n’egamba nti omuntu yenna omuserikale gw’asaba ssente agende amuloope mu bakamanda abamutwala abali mu bitundu ekyo  amateeka gamukoleko.

Bino abakungu ba minisitule y’ebyokwerinda okwabadde minisita  Adolf Mwesige ne munne ow’eggwanga Maj. Bright Rwamirama be baabitegeezezza bannamawulire mu Kampala.

Baabadde balambululwa ebituukiddwaako minisitule y’ebyokwerinda (nga bwe byasuubizibwa mu  manifesito ya NRM ) bukyanga NRM etandika ‘kisanJa hakuna muchezo’ mu 2016.

Okutuuka ku bino kyadiridde ebigambibwa abamu ku ba LDU basaba abantu naddala abatambula ekiro ssente. Mwesige yagambye nti teri muserikale yenna akirizibwa kusaba bantu ssente n’akunga abantu okutandika okubaloopa.

Kyokka dayirekita wa manifesito Willis Bashasha yagambye nti kisoboka okuba ng’abamenyi b’amateeka batandise kusiiga ba LDU enziro babakyayise bo bayiseewo ekyabwe.Mwesige yagambye nti LDU eri wansi w’amagye era gegagisasula era ng’efugibwa mateeka g’amagye nga bw’abaako omusango gw’ezza kkooti y’amagye gy’avunaanirwa.

Ku bimu ku bituukiddwaako mu manifesito kuliko okwongeza emisaala gy’abajaasi gisobole okutuukana n’egyabasomesa,okusima nayikondo mu nkambi  kiyambe okukendeeza ensimbi ezisasaanyizibwa ku kugula amazzi, okussa amasanyalaze g’enjuba mu nkambi kikendeeze ensimbi ezisasanyizibwa ku masayalaze , n’okutandika okuzimba eddwaliro

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...