TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obwenzi Polof. Bukenya yabutandika mu 1980 - Mukazi we

Obwenzi Polof. Bukenya yabutandika mu 1980 - Mukazi we

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2019

Muky. Bukenya alumiriza bba, Polof. Bukenya nti obwenzi yabutandika mu 1982/83 bwe yayenda ku muwala Teddy Ndagire ne bazaala omwana omu, omugenzi Capt. Brian Bukenya.

Funayo 703x422

Polof. Bukenya ne mukazi we

 

Muky. Bukenya alumiriza bba, Polof. Bukenya nti obwenzi yabutandika mu 1982/83 bwe yayenda ku muwala Teddy Ndagire ne bazaala omwana omu, omugenzi Capt. Brian Bukenya.

Ekiwandiiko era kiraga nti mu gya 1990 nga giggwaako Polof. Bukenya yakwana omukazi omulala omugenzi Stella Njuba (muwala wa munnamateeka omugenzi Sam Kalega Njuba) n’amuzaalamu abaana babiri era nti yali yamuzimbira amaka e Bunnamwaya.

Ekiwandiiko era kiraga nti emyaka gya 2000 nga gitandika, bba era yayenda ku Margaret Kabasinguzi Nyabongo Akiiki ng’ono yali omu ku baamunoonyeza obululu n’okukunga abantu mu kitundu kye yali akiikiria ekya Busiro North nga yamuzaalamu omwana omu era ono nti yamuzimbira Fortportal.

Mu 2004 Bukenya yayagala Jamila Nakku ng’ono abeera mu maka agasangibwa e Nagulu, Lwantama, okusinziira ku kiwandiiko kino muka Bukenya kye yatutte mu kkooti. Ono amulumiriza n’okumwanjula mu bakadde be.

Okusinziira ku kiwandiiko kya Margaret Bukenya, mu mwaka 2008 Polof. Gilbert Bukenya yaganza eyali omukozi we mu ofiisi y’omumyuka wa Pulezidenti nga ye Shony Batanda ng’ono yamuzaalamu omwana ow’emyaka 8.

Wakati wa 2014 ne 2015 nti Gilbert Bukenya yayagala Justine Najjemba nga yamuzaalamu omwana wa myaka 4 era alina amaka e Namayumba Wakiso.

Polof. Bukenya yakwana n’omukazi omulala Josephine Nakafu naye eyali omukozi we era kuno yagasseeko abalala b’agamba nti bba, Bukenya, yabakolako obwenzi okuli omuyimbi Iryn Namubiru n’abalala nga bino bimuleetedde okuswala mu maaso g’abantu.

Muky. Bukenya agamba nti obwenzi buno ye kennyini azze abwerabirako kyokka nga ne bw’agamba bba okukyusaamu tamuwuliriza. Yawaddeyo ne bye yayise ebizibiti ebikakasa obwenzi buno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...