TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Polofeesa Bukenya answazizza , sikyalina kitiibwa mu bantu'

'Polofeesa Bukenya answazizza , sikyalina kitiibwa mu bantu'

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2019

Muky. Bukenya bwe yabadde annyonnyola lwaki ayagala bagattululwe, yalaze nti bba, Polof. Bukenya amuswazizza nnyo nga kati emyaka 10 yagenda mu maka amalala agasangibwa e Garuga Katomi gy’akolera obubaga okuli obwa bikini n’okuyita basereebu ab’enjawulo nga bino byonna bimuleetedde okusalawo baleme kuddamu kubeera mwami na mukyala.

Buke 703x422

Mukyala Bukenya agamba nti mu October wa 2011 bba yagendako mu maka gaabwe okwetaba mu kusaba bwe baali baakata Polof. Gilbert Bukenya okuva mu kkomera e Luzira. Okuva mu July wa 2012 amaka g’e Ntinda yagasuulawo.

Agamba nti okuva olwo takyabawa buyambi era abakuumi abaali bateereddwaawo okukuuma eyaliko omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga baavaawo dda olw’obutafuna mmere n’ebirala.

‘POLOFEESA ANSWAZIZZA, SIKYALINA KITIIBWA MU BANTU’

Muky. Bukenya bwe yabadde annyonnyola lwaki ayagala bagattululwe, yalaze nti bba, Polof. Bukenya amuswazizza nnyo nga kati emyaka 10 yagenda mu maka amalala agasangibwa e Garuga Katomi gy’akolera obubaga okuli obwa bikini n’okuyita basereebu ab’enjawulo nga bino byonna bimuleetedde okusalawo baleme kuddamu kubeera mwami na mukyala.

“Olw’okwagala abakazi ab’enjawulo omukyala aswadde nnyo nga buli kaseera abeera mu kumubudaabuda mu Klezia.

Okumala emyaka egiwera Polof. Bukenya aludde nga takyakwata masimu bw’amukubira era bw’aba alina ky’amugamba alina kusooka kuyita mu bakozi be”, ekiwandiiko bwe kyategeezezza.

Ekiwandiiko era kyalaze nti ensonga eno yatuukako mu Klezia, aba famire n’abeekika ne bagezaako okubatabaganya kyokka byalema.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...