TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi esazeewo okutabaganya Bugingo ne mukyala we

Poliisi esazeewo okutabaganya Bugingo ne mukyala we

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2019

POLIISI etandise kaweefube okutabaganya Paasita Aloysius Bugingo ne mukyala we Teddy Naluswa Bugingo baddihhane.

Nyarwanda 703x422

Bugingo ne Teddy Naluswa poliisi egenda kubatabaganya.

Ku Lwokubiri poliisi yatuuzizza Naluswa mu ofiisi y’akulira ensonga z’amaka n’abaana mu Kampala South ku poliisi e Katwe era akafubo kaakabaddemu atwala ofiisi eno SP Emaru, Naluswa, Vincent Okurut akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala South, Diana Nabukeera akulira ebya’amaka n’abaana ku poliisi e Katwe n’abalala.

Akafubo kaamaze essaawa ezisoba mu nnya nga Naluswa annyonnyola by’azze ayitamu okuva lwe yafumbirwa Bugingo n’okusingira ddala ebibaddewo mu myaka esatu Bugingo gy’amaze nga tali waka.

Naluswa yannyonnyodde nti, atulugunyiziddwa mu bwongo olw’enneeyisa ya bba ate n’atakoma okwo, waliwo ebibinja by’abantu musanvu n’ekirala kya bantu munaana abamulumbagana mu maka ge ky’atya nti bayinza okumutuusaako obulabe.

Naluswa yasooka kuddukira ku poliisi y’e Kajjansi n’aggulawo omusango ogwekuusa ku by’amaka ku fayiro nnamba SD: 51/05/05/2019. Fayiro eno, poliisi y’e Kajjansi gye yasitudde n’eweereza ku poliisi e Katwe.

Ensonda ku poliisi e Katwe zaatutegeezezza nti, Naluswa yagambye abaserikale nti, ye talina buzibu bwonna ku bba Bugingo era mwetegefu okumuddiramu wadde by’amukoze bingi baddewo nga bwe baali okuva emabega.

Naluswa yagambye abaserikale nti, byonna omwami we by’amwogerako tekuli kituufu naye amazima kati ensi egamanyi ayagala kuwasa mukazi mulala gwe yafuna era gw’azimbira n’ennyumba amatiribona e Wakiso.

Kigambibwa nti, Naluswa bwe yagenda mu kkanisa ya House of Prayer Ministries International e Makerere mu kusaba nga Bugingo tategedde, bwe yavaawo, bba yaddukira ku poliisi n’amuggulako omusango gw’okuyingiza emmundu mu kkanisa ye era ku Lwokubiri bwe yabadde ku poliisi e Katwe ensonda zaategeezezza nti, yakoze sitatimenti endala kyokka tekyategeerekese oba nga yabadde agikola ku musango bba gwe yamuggulako oba zaabadde nsonga ndala.

Bugingo aludde ng’akolokota mukazi we Naluswa mu kkanisa ng’amulumiriza nti ye ne muwala we Doreen Kirabo Bugingo baagala kubba ttaka lya kkanisa.

Bugingo alumiriza nti, mukazi we ne muwala we baludde nga bamukola ebintu bye yatuuka ekiseera nga takyasobola kuguminkiriza omuli okumutega obuuma obukwata amaloboozi n’ebifaananyi ne ku nsonga ezitalina makulu era yategeeza abagoberezi nti, bwe baalaba akatambi konna ng’ali bukunya, bakimanye nti, muwala we abadde yamufuukira mbega mu maka.

Oluvannyuma lw’okutuuza Naluswa, poliisi yayise Bugingo. Ensonda ku poliisi e Katwe zaategeezezza nti, baamuyita ku Lwakubiri n’atasobola n’abasaba okweyanjula olwaleero Olwokuna kubanga yabadde alina olukuhhaana lwe yabadde alina okubeeramu e Kololo.

POLIISI EKKIRIZZA ENTEESEGANYA

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango yagambye nti, Bugingo baabadde bamuyise ku Lwokusatu n’abagamba nti, bannamawulire bajja kumutambulirako n’ategeeza nti, ajja kufuna olunaku yeetwale ku poliisi.

Onyango yagasseeko nti, Naluswa sitatimenti endala gye yakoze, yabadde ayongereza ku gye yasooka okukola ku poliisi e Kajjansi.

Yannyonnyodde nti, nga poliisi tebaliiwo kwawukanya bantu n’agamba nti bwe banaamala okuwuliriza oludda lwa Bugingo, bajja kugezaako okulaba nga babatuuza bombi boogere nabo balabe oba basobola okuddihhana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Note 220x290

Omugga Ssezzibwa guwagudde ne gutwala...

OMUGGA Ssezibwa gubooze ne gutwala omwana abadde agenze ne banne okuwuga. Omwana amazzi gwe gaatutte abadde agezaako...

Ramos4542051 220x290

Ramos mukoowu mu Real

Ramos yatudde ne pulezidenti Perez ne beegeyaamu ku by'okusigala kwe mu Real Madrid.

Kasirye1 220x290

Batadde kkamera 200 e Namugongo...

ABABADDE beesunga okukola effujjo e Namugongo bubakeeredde, abeebyokwerinda bwe baatadde kkamera ezisboba mu 200...

Vision Group etegese omudaala ttabamiruka...

OLWALEERO kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde etegese olukung'aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa...

Chelsealampard 220x290

Chelsea eswamye Lampard

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala