TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Biibino ebigambo bya Kitatta ebiraga amaanyi n'obuyinza

Biibino ebigambo bya Kitatta ebiraga amaanyi n'obuyinza

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2019

Nga Pulezidenti Museveni akyali mu buyinza, tewali asobola kunkwatako wadde okuntiisatiisa.

Bodaboda2010leaderabdallahkitatta 703x422

Abdalla Kitatta

  • Nze sitiisibwatiisibwa era abalowooza nti musobola okunnyigiriza bubakeeredde kuba tugenda kubayigga ng’abayigga ebiyenje.
  • Abalowooza nti muyinza okutiisatiisa Gen. Kayihura musaaga, kuba nsobola okuyimbula Bodaboda 10,000 ne zimutaasa ku Tumukunde.
  • Buli wa Bodaboda alowooza nti ajja kulwanyisa NRM, nja ku mufiirako kuba nnina obuyinza era temunzannyisa.
  • Tewali muntu ayinza kuntiisa mu Uganda okuggyako Pulezidenti Museveni.
  • Nga Pulezidenti Museveni akyali mu buyinza, tewali asobola kunkwatako wadde okuntiisatiisa.
  • Nja kufaafaagana n’abo bonna abalowooza nti bayinza okuggya Pulezidenti Museveni mu buyinza.
  • Abavuganya Gavumenti abalowooza nti muyinza okuleeta akavuyo mu Kampala mbalabula nti gano amatwale gange.
  • Pulezidenti olumu akola ensobi n’alonda abantu abatalina kye bamanyi ne balowooza nti bayinza okutiisatiisa Kitatta.
  • Abagamba nti mmenya amateeka mumpawaabire mbaliyirire, kyokka bwe gubasinga nga nange mundiyirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...