TOP

Museveni abakubirizza okujjumbira obwegassi

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2019

PULEZIDENTI Museveni awadde abakulembeze amagezi ku mitendera gyonna okwekolamu ebibiina by’obwegassi gavumenti esobole okubayamba kuba tekijja kusoboka kubongeza emisaala mu kiseera kino.

Manya1 703x422

Museveni ng’ateeka omukono ku kusaba kw’Abanyoro okwokwesimbawo mu 2021.


Yasinzidde mu lukiiko olwatudde ku wooteeri ya Kontiki mu kibuga Hoima gye yasisinkanidde abakulembeze okuva mu disitulikiti za Bunyoro okuli; Buliisa, Hoima, Kagadi, Kakumiro, Kibaale, Kikuube, Kiryandongo, ne Hoima.

Pulezidenti yategeezezza nga bw’amaze okugezesa enkola y’okutendeka abavubuka emirimu gy’omu mutwe mu Kampala era kati agenda kugitambuza mu bitundu by’eggwanga ebirala ebyasaliddwaamu zooni 20.

Asuubira okubangula abavubuka mu mirimu ng’okubajja, okukuba kasooli, okukolamu saluuni, n’ebirabo by’emmere basobole okutandikawo emirimu.

Museveni yalabudde ku kabi akali mu kugunjula ettaka n’ategeeza nti kizihhamya emirimu gy’enkulaakulana egyandikoleddwaako.

Okusooka Pulezidenti yatongozza okuzimba oluguudo lwa kiromita 4 mu kibuga Hoima nga lwa kulamalwo obuwumbi 31 era lwakuteekebwako n’ebitaala ebikozesa amaanyi g’enjuba.

AKYALIDDE OMUKAMA WA BUNYORO

Ku lunaku lwe lumu, Pulezidenti yakyalidde Omukama wa Bunyoro, Solomon Gafabusa Iguru mu lubiri lwe e Hoima.

Abakulu bombi baayogedde ku nsonga z’okwekulaakulanya eziwerako omuli okuzimba yunivasite y’e Bunyoro esuubirwa okutumbula ebyenjigiriza mu kitundu.

Omukama yasanyukidde obuwagizi Gavumenti bw’ezze ebawa mu bbanga ery’emyaka 25 bukya Obukama buddawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...