TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mamerito Mugerwa bamulumirizza okwezza ettaka ly'ekisaawe kya Namboole

Mamerito Mugerwa bamulumirizza okwezza ettaka ly'ekisaawe kya Namboole

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2019

EYALI ssentebbe wa LC III e Kira Mamerito Mugerwa bamulumirizza mu kakiiko akabuuliriza ku nsonga z’ettaka nti y’omu ku bantu abalemesezza ekisaawe kya Mandela National Stadium e Namboole okukulaakulanya ettaka ly’ekisaawe

Mugerwa 703x422

Ekisaawe ky’e Namboole. Mu katono ye Mamerito.

Erinnya lya Mugerwa lyaloopeddwa akulira kkampuni eyateekebwawo okuddukanya ekisaawe kino eya Mandela National Stadium LTD, Jamil Ssewanyana eyategeezezza ab’akakiiko nti buli lwe batuukirira Mugerwa abategeeza nti ettaka lirye.

Yagambye nti Mamerito yatwala ettaka ekitundu kya yiika n’ateekako konteyina ezirimu bizinensi ez’enjawulo, n’oluggya lwa wooteri. Teyakoma okwo, ye ne Brig. Hudson Mukasa balina ekitundu ekirala ku ttaka kye bapangisa kkampuni ya Tera zone Construction LTD.

Ssewanyana yannyonnyodde akakiiko nti Mamerito buli lwe bamutuukirira abategeeza nga gavumenti bwe tannamuliyirira kuva ku ttaka kyokka ng’ebiwandiiko bye balina biraga nti abantu abaali ku ttaka lino gavumenti yabasasula.

Abalala beyanokoddeyo kuliko ab’eyita abazirwanako aba Kireka Veterans Development Group, ekkanisa ya Kireka Prayer Palace, Bulemeezi Maize Milling Factory, Sports View Hotel, Samsudini night parking, Byakuleka lodge, akatale ka Bweyogerere Central Market, Richard Makaayi Bazitya n’omusawo w’ekkinasi atamannyiddwa mannya eyatandika okusawulirawo mu 2015 mu mayinja agalinaanyewo ng’agamba nti omuzimu Namboole gwamulagira okusamirira mu mayinja gano.

Yategeezezza akakiiko nti baagezaako okugoba omusawo w’ekinnasi naye ne bafuna ebbaluwa okuva mu Bwakabaka bwa Buganda nga bubategeeza nti eno mbuga yaabwe era kifo kya nnono.

Ssewanyana yagambye ssentebe w’akakiiko, omulamuzi Catherine Bamugemereire nti mu 1999 gavumenti yasalawo okugula ku bantu ezimbe ekisaawe wabula ku yiika 120 ezaagulwa ab’ekisaawe bakozesaako yiika 60 endala abantu ab’enjawulo baazekomya nga bagamba nti zaabwe.

Yannyonnyodde nti ku ntandikibwa abantu munaana be baali ku ttaka naye kati abaliko abalikaayanira basoba mu 300 ng’abamu balina n’ebyapa ebikoleddwa mu 2017.

Yagambye nti ekizibu kye balina ekyapa ky’ekisaawe kiri mu mannya ga Uganda Land Commission (ULC) kyokka ebyapa ne liizi abantu bye baleeta nga bakaayanira ettaka ly’ekisaawe aba ULC be baabibawa nga kati baagala akakiiko kaboogerereyo ekyapa kiggyibwe mu mannya ga ULC kiteekebwe mu g’ekisaawe.

Yagambye nti kati bali mu kutya kubanga wayinza okuvaayo abantu abalala abakaayanira ekisaawe kyennyini we bazanyira omupiira kubanga kati buli kimu kisoboka mu Uganda.

Kuno yagasseeko nti amawanga agenjawulo nga China ne bamusiga nsimbi bazzenga baagala okukulaakulanya ekisaawe nga bazimba ebisaawe ebiri ku mutindo eby’emizanyo emirala naye olw’okuba ekyapa tekiri mu mannya ga kisaawe batya okuteekamu ssente zaabwe olwo ddiiru nga bagitwala mu mawanga amalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Note 220x290

Omugga Ssezzibwa guwagudde ne gutwala...

OMUGGA Ssezibwa gubooze ne gutwala omwana abadde agenze ne banne okuwuga. Omwana amazzi gwe gaatutte abadde agezaako...

Ramos4542051 220x290

Ramos mukoowu mu Real

Ramos yatudde ne pulezidenti Perez ne beegeyaamu ku by'okusigala kwe mu Real Madrid.

Kasirye1 220x290

Batadde kkamera 200 e Namugongo...

ABABADDE beesunga okukola effujjo e Namugongo bubakeeredde, abeebyokwerinda bwe baatadde kkamera ezisboba mu 200...

Vision Group etegese omudaala ttabamiruka...

OLWALEERO kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde etegese olukung'aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa...

Chelsealampard 220x290

Chelsea eswamye Lampard

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala