TOP

Kamuswaga atongozza ekitabo ky'olulimi Olukooki

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2019

Obwakamuswaga bwa kooki butongozza ekitabo ekisookedde ddala eky'Olulimi olukooki nga kino kiwomeddwamu omutwe ofiisi ya Katuukiro Hajji Iddi Kiwanuka n'abatuula ku kakiiko k'ebyokunoonyereza.

Kamuswaga5 703x422

BYA MARIA NAKYEYUNE 

Kino kitongozeddwa Kamuswaga wa Kooki Apollo Ssansa Kabumbuli II Lwampanja ku mikolo egyokukuza amatikkira ge ag'omulundi ogwa 15 e Lwamaggwa ku kisaawe ng'ali wamu n'akiikiridde omukulembeze w'eggwanga nga ye minisita avunaanyizibwa ku bigwawo bitalaze, Musa Ecweru ng'ono awaddeyo obukadde 20 ku lwa Pulezidenti Museveni.

Kamuswaga agamba nti olulimi Olukooki singa lunaabunyisibwa, lwa kusitula empisa mu bantu be, ennono wamu n'obulombolombo.

Asabye Gavumenti okuyambako ku balimi olw'akawuka akamazeewo ebitooke n'emmwanyi mu Kooki n'okubakolera ku nguudo ezibayunga ku disitulikiti endala.

Oluvannyuma Kamuswaga agabudde abantu be ekijjulo kya keeki ng'omukolo gwetabiddwako abakulembeze b'ennono abenjawulo okuva e Toro, Buruuli, Bugwere n'abalala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ramos4542051 220x290

Ramos mukoowu mu Real

Ramos yatudde ne pulezidenti Perez ne beegeyaamu ku by'okusigala kwe mu Real Madrid.

Kasirye1 220x290

Batadde kkamera 200 e Namugongo...

ABABADDE beesunga okukola effujjo e Namugongo bubakeeredde, abeebyokwerinda bwe baatadde kkamera ezisboba mu 200...

Vision Group etegese omudaala ttabamiruka...

OLWALEERO kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde etegese olukung'aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa...

Chelsealampard 220x290

Chelsea eswamye Lampard

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala

Funa1 220x290

Engeri abakola mu bbanka gye babba...

POLIISI mu kubuuliriza kwayo ku mukozi wa Barclays Bank, Nashiba Naiga agambibwa okubba obukadde 190 ku akawunta...