TOP

Kitatta bye yakola ku ntikko y’obuyinza

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2019

TUKULEETEDDE engeri Abdullah Kitatta gye yali yeeyisaamu mu biseera mwe yayuugumiza Kampala, bwe yali omuyima wa Bodaboda 2010 ng’amalala n’obuyinza by’alina tamanyi baminista, bagenero b’amagye, oba abagagga ssente be ziyitaba.

Kita1 703x422

Mu Kampala buli lw’obadde oyogera ku linnya Kitatta ng’abantu abasinga naddala abavuzi ba bodaboda olutiko lubamera. Buli lw’abadde alabika nga wabeerawo akayuuguumo olw’okutambulanga n’ebibiina by’abavubuka abawunya omusaayi.

Ekikolwa ky’okulagira aba bodaboda okukuba abayizi b’essomero abaali bambadde ebimyufu nga bagenda ku mukolo mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe kye kyasinga okumwonoona ennyo mu bantu mu October wa 2017.

Kitatta abadde musajja ayogeza amaanyi n’obuyinza era bw’omubeera okumpi okkiririzaawo nti ddala takyasabirwa.

Ebigambo bye bibadde bijjudde obuyinza ng’ebimu bye yayogerera mu mbeera ez’enjawulo bwe biragiddwa.

Engeri gye yatambulangamu yalina ekibinja ky’abavubuka be yatambulanga nabo olwo n’alyoka agobererwa abaserikale ba poliisi.

Abavubuka baatambuliranga mu mmotoka ekika kya Mark 11 ng’olumu baalabibwanga n’emmundu.

Kitatta yalinanga emmotoka ennene ey’ekika kya Land Cruiser era bwe yagisimbanga bagguliranga muggulire omuserikale eyali amukuuma ng’amukubira saluti.

Abavubuka be abaamukwatiranga amasimu nga bamutambulira ku lusegere nga tomala gamusemberera. Yali anyumirwa okuwugira ku ‘Pool’ y’oku Freedom City e Namasuba waggulu ku “Sky Beach” naye nga bw’abeera ayingira ekizimbe ogamba nti genero w’amagye era nga takkiriza kumwaza ayitawo buyisi.

Yateranga okutuula ku masundiro g’amafuta e Nalukolongo ng’abantu be yayagalanga okuwa ku ssente we bamusanga.

Abantu bangi abaamulyanga mu ngalo era bangi abaleebeesi yabalekeranga ssente eziri wakati we 5,000/- 10,000/- ne 20,000/- ng’oyinza okulowooza mukungu wa Gavumenti.

Ekibiina kya Bodaboda 2010 kyalina emirandira wonna mu kibuga era nga mu buli Munisipaali balinamu ofiisi okwalinga n’ekkomera mwe baasibiranga abantu.

Ofiisi y’e Nateete yali kumpi ne Sunset ng’ekulirwa Joel Kibirige, ey’e Bukesa, Mengo okumpi ne bbaala ya Ambiance yali ekulirwa Atanansi Kafeero era ssentebe w’ekibiina. Eye Makindye yali kumpi n’enkambi y’amagye ne Nakawa.

Enkola eno yali esaasaanidde Kampala yonna ng’owa bodaboda atali wa 2010, asalawo n’agula kaadi yaabwe okusobola okwewonya abasajja bano abaakubanga abantu ne batuuka n’okubaleetako ebisago eby’amaanyi bye baalaga Lt. Gen. Henry Tumukunde ng’akyali minisita w’obutebenkevu.

KITATTA LWE YAZINGAKO KKOOTI Y’E MAKINDYE

Ku ntikko y’okulaga obuyinza bwe n’okwolesa amalala, Kitatta yakola ebintu bingi omuli ebiwuniikiriza omwali n’okugaana eyali omuduumizi wa polisi, Gen. Kale Kayihura okugenda ku kkooti e Makindye gye yali ayitiddwa okwewozaako ku by’okutulugunya ab’oludda oluvuganya mu kalulu ka 2016.

Ekyewuunyisa wadde akacankalano ku kkooti kaatwala essaawa eziwera ettaano ng’aba bodaboda bakola effujjo, tewali muserikale yenna yabeesimbamu kubayimiriza.

Kitatta yali yagula mmotoka etambuza abalwadde eyali yawandiikibwako ebigambo nti, “Boda Boda 2010 Ambulance’ kyokka eno, obutanda obulina okwebakibwako abalwadde bwali butambulirako miggo.

Mu October wa 2015, Besigye bwe yali ava ewuwe ng’agenda mu lukuhhaana e Jinja, poliisi yamukwatira mu maka ge n’emuggalira ku poliisi ya Kira Road, bannabyabufuzi b’oludda oluvuganya n’abawagizi ba Besigye beeyiwa ku poliisi okulaba omuntu waabwe.

Ku ssaawa nga 12:00 ez’akawungeezi, Ambulance ya bodaboda 2010 yayingirawo ng’ekubyeko abasajja ne balagira poliisi okudda ebbali kibooko n’enyooka ku bawagizi ba Besigye.

Abadde yatandika n’okuyingira mu nkaayana z’Obusiraamu naddala ezeekuusa ku by’ettaka era e Nateete ku muzikiti yayungula abavubuka be era n’alumba n’e Kyebando.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ramos4542051 220x290

Ramos mukoowu mu Real

Ramos yatudde ne pulezidenti Perez ne beegeyaamu ku by'okusigala kwe mu Real Madrid.

Kasirye1 220x290

Batadde kkamera 200 e Namugongo...

ABABADDE beesunga okukola effujjo e Namugongo bubakeeredde, abeebyokwerinda bwe baatadde kkamera ezisboba mu 200...

Vision Group etegese omudaala ttabamiruka...

OLWALEERO kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde etegese olukung'aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa...

Chelsealampard 220x290

Chelsea eswamye Lampard

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala

Funa1 220x290

Engeri abakola mu bbanka gye babba...

POLIISI mu kubuuliriza kwayo ku mukozi wa Barclays Bank, Nashiba Naiga agambibwa okubba obukadde 190 ku akawunta...