TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita alagidde kkampuni ezikola waragi w'obuveera ziggalwe

Minisita alagidde kkampuni ezikola waragi w'obuveera ziggalwe

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2019

MINISITA w’ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde alagidde ekitongole ekikola ku by’omutindo gw’ebikolebwa mu ggwanga ekya UNBS okukola ebikwekweeto okufuuza amakkampuni agakyalemedde ku kukola waragi w’obuveera.

Waragi680380 703x422

BYA MUWANGA KAKOOZA NE PAUL KAKAKNDE

Kyambadde agambye nti nsalesale eyaweebwa amakkampuni agakola waragi w’obuveera yaggwaako May 1 era tekyali kkampuni ekirizibwa kusigala ng’emufulumya era buli ekikola kati ekikolera bweru w’amatteeka.

‘’N’okukola waragi w’akacupa akali wansi wa 200mls tekikirizibwa’’ Kyambadde bwe yakatirizza. Kyokka n’agamba nti waragi w’obuveera ali mu madduuka nga yakolebwa dda wa ddembe okutundibwa okutuusa lw’anaggwaamu.

Bino Kyambadde yabitegeezezza bannamawulire bwe yabadde ayogera ku bituukiddwaako minisitule ye bukyanga ‘kisanja hakuna muchezo’ kitandika mu 2016.

N’agamba nti waragi yenna akolebwa alina kubeera mu ccupa nneneko kuba kino kiyamba okukendeeza ku bamufuna mpola abamunywa obubi  wamu n’abaana n’amasomero olw’okuba abadde ku bbeeyi ntono.Ekibonerezo ky'okusanga ng'okola waragi kya kukuggyako layisinsi.

Yagambye nti  gavumenti yazudde nti waliwo n’amakkampuni agaleeta waragi okuva ebweru ne gatuuka wano ne gamutulula mu buveera gasobole okutunda omungi. Era kwe kutegeeza nti gavumenti yasazeewo okuwera obuveera obuyingizibwa wano nga bwakusaamu waragi.

Ku nsalo z’e Rwanda ezaggalwa, Kyambadde yagambye nti ensalo y’e Katuna ekyali nzigale .

Kyokka ng’abasuubuzi basobola okuyisa ebyamaguzi byabwe e Mirama kyokka basanga obuzibu bungi kuba emisoso egyabassibwako Rwanda mingi ekikalubya ebyamaguzi byabwe okutuuka amangu ku katale.

Yagambye nti embeera ya kaseera kuba abakulembeze ba Uganda ne Rwanda bali mu nteseganya era zinaatera okuggwa.

Ku bayinvesita abagwiira abatembeeya ebintu, minisitule ye ng’eri ne poliisi bakoze ebikwekweeto okubafuuza kuba balemesa Bannayuganda okubaako kye beekolera era amadduuka bagagadde okugeza e West Nile gye baakwatira Abachina abali batunda mu madduuka ga lejjalejja.

            N’agamba nti gavumenti ekoze etteeka erigenda okulung’amya ba yinvesita abava ebweru ku mirimu gye bayinza okukola n’ebitundu gye balina okugikolera. Ku bituukiddwaako minisitule mu manifesito, yagambye nti ministule etumbudde eby’obusuubuzi ng’egabira Banayuganda ebyuma ebikuba kasooli  n’okusunsula emmwaanyi ekitumbudde ebyamakkolero.

            N’agamba nti n’amakkolero mangi gaguddwaawo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...