TOP

MWETTANIRE EBIBIINA BY'OBWEGASSI - POOKINO

By Ssennabulya Baagalayina

Added 18th May 2019

POOKINO (Owessaza Buddu) Vincent Mayiga Ssebbowa akunze Bannabuddu bettanire ebibiina by'obwegassi lwe bajja okwegobako obwavu.

Lukayafanssacco22 703x422

Pookina Mayiga ng'ayogera eri aba SACCO ya Lukaya Fans Club.

BYA SSENNABULYA BAAGALAYINA

 

POOKINO (Owessaza Buddu) Vincent Mayiga Ssebbowa akunze Bannabuddu bettanire ebibiina by'obwegassi lwe bajja okwegobako obwavu. 

Amagezi gano yagaweeredde ku mukolo gwa Lukaya Fans Club SACCO gye yabadde omugenyi omukulu mu nsisinkano yaabwe eya buli mwaka.

"Mbakubiriza mugende mu maaso n'obwegassi kuba bwe tutambulira awamu tutuuka wala, era mukole nnyo n'okuyambagana mu kwetuusaako ebirungi",bwe yakkaatirizza. 

Omubalirizi w'ebitabo Daniel Mwase owa MDJ and Partners yabakakasizza nti SACCO yaabwe ekyatambula bulungi mu by'ensimbi ng'asinziira ku magoba ge baakola mu  2017 a'obukadde 131 nga kati gaalinnye ku bukadde 165.

Mwase era yagasseeko nti bammemba 33 be baatandika SACCO eno kyokka kati baweze 1,500 oluvannyuma lw'emyaka kkumi. 

Alipoota y'omuwanika Kasumba Charles Ssekitto era omwami wa Kabaka ow'eggombolola ye Bukulula/Lukaya yalaze nti ebyobugagga bya SACCO bizitowa akawumbi kalamba.

DPC Abraham Tukundane ne Meeya Gerald Makers Ssennyondo baakuutidde abaakiiko obutazannyira mu ssente z'abeegassi. 

Ate Daniel Bakayana, Omumyuka wa Kasumba yabakubirizza okwetabanga mu misomo gy'ebyenkulaakulana okufunayo amagezi bongere okuggumizza SACCO yaabwe. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala 220x290

Ebya Nagirinya biyingiddemu omukazi...

POLIISI eyongedde okugaziya okunoonyereza kwayo mu kutemula Maria Nagirinya, bwegguddewo fayiro ku mukyala omu...

Rermanamakula 220x290

Rema amalirizza okugula eby’omukolo...

OMUGOLE Rema Namakula akomyewo okuva e Buyindi ne mu Butuluki na ssanyu era agamba tewali ayinza kwekiika mu mukolo...

Img20190831wa0235209984377320145757 220x290

Ebikwata ku kusoma kwa Sebunya...

HAMZAH Sebunya, bba wa Rema omupya yasooka kukuguka mu by’okukebera omusaayi mwe yatikkirwa dipulooma mu November...

Manya 220x290

Omukyala asusse okumpisiza omukka...

SSENGA, Mukyala wange alina omuze gw’okumpisiza omukka ate nga guwunya bubi ddala. Tusula mu muzigo kale bw’akikola...

Gnda 220x290

Omukyala kaalaala alumya omutima...

NG’OMUKWANO bwe bagamba nti butiko tebukkatirwa nange olugero olwo nali n’alukwata bulungi era ebbanga lye nnamala...