TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekyalo Mutundwe ne Kisigula lwaki byatuumibwa bityo

Ekyalo Mutundwe ne Kisigula lwaki byatuumibwa bityo

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2019

Ekyalo Mutundwe ne Kisigula lwaki byatuumibwa bityo

Mut2 703x422

Akasozi Mutundwe nga bwe kalabika.

NGA tukyagenda mu maaso n'okutunuulira amagezi Abaganda ge baakozesanga okutuuma ebintu, abantu, ebyalo, ebimera, emiti n'ebirala Ssande ewedde twatunuulidde engeri ekyalo Najjanankumbi gye kyafunamu erinnya lyakyo.

Ndowooza naawe wanyoleddwa bwe wafumiitirizza ku nnaku eyinza okwefuga omusajja oyo abadde ne mukyala we nga baagalana, bakkaanya ne bazaala abaana, ne bamanyiiragana n'oluusi ne bakulana kyokka n'ajja amufaako n'asigala awo mu gw'e Busami. Olwaleero ate katuserengete e Mutundwe tutuukire ddala n'e Kisigula. Ku lusozi luno kwe kwabeeranga omumbowa wa Kabaka eyayitibwanga Ssebatta.

Omumbowa oyo bwe yalagirwanga okutta omuntu yenna nga talonzalonza era n'oluusi abeejjeerezebwanga oluvannyuma ne bamutumira bateebwe , abatume baasanganga yamaze dda okubaggya mu budde. Ssebatta yali tamanyiirwa era yavaako n'ekisoko ekigamba nti, "okukwatira Ssebatta ensawo" ekitegeeza okubeera ku bwerende, nga aliraanye bbomu, anti essaawa yonna ebaluka.

Ekisoko ekyo kikozesebwa ku muntu aliko kye yeeraliikirira ng'essaawa yonna kiyinza okumuleetera obuzibu. Kabaka bwe yabangako ky'akyusizza mu kusalawo kwe yatumiranga Ssebatta ababaka okumutegeeza.

Kigambibwa nti erinnya Mutundwe lyava ku biragiro ebyavanga ewa Kabaka nga bigamba nti, "Ssaabasajja Kabaka alagidde nti ab'emisango emibi battibwe buttibwa, ab'emisango emirungi mutundwe.

Muwulidde? Mutundwe (Mutundibwe)" Akasozi Kisigula kali wakati w'olusozi Mutundwe n'akasozi Kamaanya. Edda akasozi ako nako baakayitanga Mutundwe, ky’ova olaba n'ababeerayo olwaleero bayitayo Mutundwe-Kisigula.

Sir Apollo Kaggwa bwe yalekulira, yafuluma n'eggwanika lya Kabaka nga liva mu lubiri e Mengo n'agenda akuba embuga ye ku kasozi ako. Mbu lwali lumu Kabaka Mwanga II n'agenda okulaba eggwanika lye.

Sir Apollo Kaggwa bwe yayolesa emmundu zonna nga n'okuwera awera, Kabaka n'agamba nti: "Tewali ggwanga lirinjeemera ng'emmundu zino zonna ziri wano" Okwo Kabaka n'abantu be kwe baasinziira okuyita akasozi ako"Kisigula", ekivvuunulwa nti "Ekisigula ennyana, kiva mu kibeere."

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Hat13 220x290

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega...

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Tum1 220x290

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi...

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere

Kab1 220x290

Aboolugave baakununula obutaka...

Aboolugave baakununula obutaka bwabwe