TOP

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2019

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi

Hot3 703x422

TWAFUNA ekikangabwa oluvannyuma lw’okutegeezebwa amawulire agaali ag’ennaku nga bwe wali okutukidde mu ddwaaliro ggwe eyali amaze ennaku essatu nga tokyamanyi biri ku nsi.

Omwaka ogwa 1987 tegwatulekera ssanyu olw'okukufi irwa ggwe eyali omwagalwa w’abangi era kitaffe Batulumayo Ssendagi. Mu bingi bye tukujjukirako; wali muntu eyali ayagaliza abantu ate ow'ekisa era kino kyakufuula ow’enjawulo ku kyalo. Ffe ng’ abaana bo, watwagala era watulaga omukwano ogw’ensusso wabula ate era teweerabiranga kutugolola buli lwe twagezangako okukola ensobi.

Tewayagalanga bintu bya kukuwa wadde okukuyamba, wagezangako okwekolerera ne bwe wabangamu n’obulwadde, weewalirizanga okwekolera n’okwetuusaako bye wayagalanga.

Ggwe watuyigiriza embeera y’ensi bw’etambula era kino kituyambye obutasaanyizibwawo bizibu bitulumba kubanga tuba tubisuubira mu ngeri emu oba endala.

Omutonzi bwe yakujjulula, mu butuufu twasalwa olw’obuteeyagalirako mu ssente zaffe ng’abaana bo kuba ng’ebiseera ebyo twali tutandiikiriza okuzifuna. Ffe ng’abaana bo tukwenyumirizaamu olw’okutwagala n’okutukuliza mu kkubo eggolokofu, wali mpagi ey’amaanyi gye twesigamangako mu bizibu era twaddukiranga gy’oli olwo n’otubuulira ebigambo ebyazzanga emmeeme zaffe mu nteeko.

Obwagazi bwe walina eri Katonda n’eddiini yo ey’Obukatoliki, waleka ogitusizeemu nga ffe abaana era tujjukira okutukakanga okugenda okusaba buli lwe twesisiggirizanga. Wakolereranga obwegassi mu masekkati ga famire yo ate naffe abaana era tukujjukira okutegekanga emikolo awaka egy’okumanyagana n’okusanyukira awamu ng'abooluganda.

Mu buto bwange, ssijjukira kulaba ku busungu bwa kitange eri omuntu yenna naddala nnyaffe, baalinga bakolagana ate nga bassa kimu. Wali muntu ow’omuwendo gwe tukyasubwa era tetukusuubira kutuva mu birowoozo byaffe olubeerera. Nze muwalawo; Rose Nambalirwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze