TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2019

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 703x422

CATHERINE Nakandi Ssekandi kati guweze omwaka mulamba bukya omutonzi amuyita nga naye ennaku n’okunyolwa emitima gyaffe abooluganda kukyali kwamaanyi ddala. Wali muweereza mu Klezia ya St.Catherine e Kitebi ng’era buli mulimu gwa Klezia wali ogwenyigiramu n’omutima gwo gwonna.

Wawaayo ettoffaali ddene naddala mu kuzimba Klezia wamu n’okusonda emmotoka ya Klezia. Era wali wa nkizo okulaba nga Klezia eno ekulaakulana era n'Abakristu ba Klezia bakyenyumiriza mu bimu kw’ebyo bye waleka otandise.

Maama Catherine Nakandi tetusobola kukwerabira olw’ebirungi n’obuteeganya bwe wayolesa mu mirimu gya Katonda, egya ofi isi n'egy’awaka.

Okukkiriza kwo kwasigala ku mutima gwange, nakuyigirako kinene, okwewaayo eri Mukama mu mbeera yonna ennungi n'embi. Wadde we wafi ira wali onafuye naye sijjukira kulabayo Ssande wadde emu bw’eti gye walemererwa okugenda ku Klezia.

Wansoomooza nange wamma n'abafamire abalala ne kitukwatako okukeeranga ku Kkanisa okusaba buli lwa Ssande. Ng’era bino bye bimu ebikufuula jjajja w'abaana, abazzukulu gwe tutagenda kwerabira mangu olw’omusingi gw’eddiini gwe wabatendeka. Njagala ntambulire mu bigere byo.

Wansomesa Katonda nga n’okutuusa kati nkyakwegomba, njagala mbeere nga ggwe ne Mukama Katonda wange, mmanyi nti ne gy’oli kati oli mu kwesiima. Ebirungi n’ensigo y’okwagala n’okuweereza Katonda gye waleka osize mu Bakristu ba Klezia ne famire yo nakati ekyalanda era etutambuliramu. Mukama tumusaba akuwummuze mirembe. Olijjukirwa ebbanga lyonna. Watusigamu ensigo y’okwagala Mukama n’eroka era terifa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi