TOP

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2019

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Kip2 703x422

JIMMY Lule eyaliko omuzannyi wa URA, Bright Stars, Wakiso Giants ne ttiimu za Uganda endala, yaziikiddwa eggulo (Lwakutaano) ku biggya bya bajjajjaabe ku kyalo Naama mu disituliki y’e Mityana.

Lule nga muto wa Owen Kasule, naye eyazannyirako Cranes, KCCA, Vipers ne ttiimu endala, w’afiiridde ng’azannyira Entebe FC eyasaliddwaako mu Big League.

Lule yafudde kirwadde kya kafuba (TB) era aludde nga kimutawaanya. Yatwalibwako mu ddwaaliro e Naggulu n’aweebwa ekitanda okumala ekiseera kyokka oluvannyuma n’asiibulwa ng’abasawo bagamba nti atereddemu wabula ne bamuwa amagezi okwongera okunyiikirira eddagala.

Yaddamu okukola emirimu gye kyokka nga talina bulungi maanyi era bwe lwatuuse ku Lwokuna n’assa omukka ogusembayo. Owen Kasule yategeezezza nti agenda kusubwa nnyo muganda we ono kuba babadde bateesa mu buli kimu era nga tewali kikolebwa nga tebasoose kukiteesaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza