TOP

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2019

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip3 703x422

LWAKI muka Polof. Gilbert Bukenya avuddeyo kati okumutwala mu kkooti ate ng’ensonga zonna ze yawadde z’asinziirako okwawukana ne bba zibaddewo okumala ebbanga ddene?

Dr. Margaret Mary Musoke Bukenya atutte bba, Bukenya mu kkooti etawulula enkaayana z’abafumbo e Makindye ng’asaba bagattululwe. Mu nsonga ze yawadde mulimu ekya Bukenya okuganza abawala ebbali n’abazaalamu abaana.

Margaret amenya abakazi abasoba mu 10, b’agamba nti Bukenya yabaganza. Kuliko Teddy Ndagire gwe yazaalamu omwana Capt. Brian Bukenya mu 1982/83. Brian yafiira mu kabenje mu 2009.

Ono Brian yazaalibwa emyaka 36 egiyise. Kiki ekisiikudde Margaret abadde abisirikidde ebbanga eryo lyonna n’abiggyayo kati! Abakazi abalala Bukenya be yazaalamu kuliko Stella Njuba eyafa omwaka oguwedde ng’ono Bukenya yamuzaalamu abaana babiri mu myaka gya 1990.

Abawala abalala okuli Sheila Nvanungi, Iryn Namubiru, Jamila Nakku abaludde nga boogerwako ne bawandiikibwako ne mu mawulire era ensonga zaabwe Margaret abadde azimanyi ate era kigambibwa nti n’abamu Bukenya kati abasenza luti.

Olwo lwaki Margaret avaayo kati okusaba baawukane! Ensonda zaategeezezza nti ensonga za Margaret zisingako ku ky’obwenzi bwa Bukenya, ng’ekisinga obukulu kugabana bintu. Obujulizi bwa Margaret bulaga nga Bukenya yamuleka mu nju e Ntinda n’asengukira e Galuga - Ntebe kati emyaka 10.

Ako kamu ku bubonero obulaga nti Bukenya yalekawo Margaret gw’alinamu abaana basatu okuli Richard Mutawonga 45, Georgina Nabukenya 42 ne Gilbert Kamoga ow’emyaka 37. Abaana abo bonna bakulu, nga ssinga Bukenya 70, Katonda amuggya mu nsi abaana abato be balina enkizo okuganyulwa mu byobugagga bya kitaabwe.

Wadde Margaret mukyala wa mmizi, kigambibwa nti abawabuzi be baamulaze nti gy’akoma okusirika y’afiirwa n’abaana be, ekiyinza n’okumufiiriza okufuna omugabo ku bintu by’akoze ne Bukenya okuva lwe baagattibwa mu 1974.

Eno yandiba ensonga enkulu eyamututte mu kkooti. Agamba nti baagatta ssente ze yafuna bwe yali akola mu Save the Children Fund, AMREF ne Mwanamugimu e Mulago ne bagula ettaka e Garuga/ Katomi okuli n’ebyazimbibwako.

Ayagala kkooti ebagabanye ettaka lino n’ebintu bye baakolerako. Ettaka eddala liri Kakiri e Lwantama, ebizimbe e Kakiri okupangisibwa bbanka ya Posta n’ekizimbe okuli Francisca Clinic e Kakiri nabyo ayagala babigabane. Okwo agattako ettaka, ebizimbe n’obugagga mu maka gaabwe e Ntinda nabyo by’ayagala bagabane. Bino we bibeereddewo Bukenya abadde bweru.

Kigambibwa nti abadde Nigeria gy’asomesa mu yunivasite emu. Kigambibwa nti Bukenya munyiivu olwa Margaret okumutwala mu kkooti naddala mu kiseera kino ng’ebyobufuzi bikutte akati. Kigambibwa nti Pulezidenti Museveni aliko ekifo ky’ategekedde Bukenya mu nkyukakyuka ezisuubirwa era ng’atunuuliddwa nga omu ku banaabeera ku lukiiko olunaamunoonyeza akalulu ka 2021.

Enkambi ya Bukenya erumiriza nti bamafiya abaludde nga bamulwanyisa be bakumye omuliro mu nsonga zino ng’ekigendererwa kwe kumulemesa okugwa mu bintu (okulondebwa ku kifo).

Ensonda zaategeezezza nti mu nteekateeka eno, Bukenya gye buvuddeko yayongerwa obukuumi n’addayo okubeera e Lwantama - Kakiri gy’asisinkanira abantu ab’enjawulo okwogera ku bigambibwa nti gy’emirimu gya Bukenya emipya.

E Galuga gy’abadde asinga okubeera, kigambibwa nti eriyo emirimu egikolebwayo okulongoosa ekifo. Kyokka ensonda endala zaagambye nti Margaret aludde ne Bukenya era amanyi engeri bamafiya gye bakola nga si kyangu kukkiriza kukozesebwa kubanga alina obumanyirivu okwawula abalabe abayinza okwerimbika mu kumuyamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.