TOP

Looya alaze engabana y’emmaali

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2019

Looya alaze engabana y’emmaali

Lop2 703x422

Prof. Gilbert Bukenya

MUNNAMATEEKA Erias Luyimbaazi Nalukoola owa ‘Nalukoola, Kakeeto Advocates and Soliciotors’ agamba nti abazadde bwe baawukana tekirina ngeri gye gikwatagana na baana b’omukazi oba omusajja be yazaala mu bakazi abalala.

Omwana alabirirwa abantu babiri okuli taata ne maama era abafumbo bwe baawukana abazadde babeera bakyalina okulabirira abaana baabwe.

Abaana abatazaalibwa mukyala wa mu maka basobola okukaayanira omugabo gwa kitaabwe, okuggyako ng’amaze okuva mu nsi. Kyokka wano nawo si tteeka nti balina okufuna, okuggyako nga babadde wansi w’emyaka 18.

Mu mbeera ng’abazadde baawukana, kirina okukkaanyizibwako agenda okusigala ng’alabirira abaana era ono ku byobugagga bw’aba agabana bakitunuulira. Eby’obugagga byokka abafumbo bye balina okugabana by’ebyo bye baakola nga bali bonna mu bufumbo.

Eby’obugagga ebirala ng’ettaka ly’ekika teririna kugabanibwa. Nalukoola agamba nti abafumbo balina okukimanya nti kyangu okwawukana n’omusajja ng’omulaba alina emmaali, kyokka nga tewali kye muyinza kugabana. Biyinza okuba nga bisikire nga tewali bukakafu bulaga kye mwakola ku ntuuyo zammwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze