TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nantaba awadde Museveni amannya g’abaagala okumutta: 'Abaagala okunzita bali mu Gav't'

Nantaba awadde Museveni amannya g’abaagala okumutta: 'Abaagala okunzita bali mu Gav't'

By Musasi wa Bukedde

Added 20th May 2019

MINISTA Idah Erios Nantaba akaabidde mu kusaba mw’agambidde nti abaagala okumutta bali mu Gavumenti mwennyini era olukalala yalukwasizza dda Pulezidenti.

Tta 703x422

Minisita Nantaba ne mmaama we mu mugongo gwe nga babasabira.

Nantaba eyabdde mu disitulikiti ye ey’e Kayunga gy’akiikirira mu Palamenti yagambye nti, kyannaku nti wadde ayogedde abaagala okumutta, akyayinza okuttibwa nga omugenzi Muhammed Kirumira bwe yattibwa, olwo n’atulika n’atandika okusangula amaziga.

Yabadde mu kusaba okwategekeddwa okwebaza Katonda amusobozesezza okukola by’azze akola n’okumuyamba okusimattuka abatujju abaali baagala okumutta. Okusaba kwabadde ku kkanisa ya Bukolooto SDA e Bukolooto mu kabuga k’e Kayunga.

Nantaba yalumirizza nti olukwe olw’okumutta luvudde mabega nga guno gwabadde mulundi gwakuna nga bamwegezaamu okumutta lwa kuba abantu baategeddeko omulundi gumu ogwa March 24, 2019 poliisi mwe yakubira Ronald Sebulime amasasi n'emutta. Yagambye nti abantu era babadde tebamanyi nti olw’okumwegezaamu okumutta enfunda eziwera yasalwo okudduka mu maka ge gye yali asula kati awezezzaayo omwaka mulamba.

YASOOSE KUYISA BIVVULU

Okusaba kuno kwakulembeddwa okuyisa ebivvulu okuviira ddala e Kabimbiri okutuuka ku kkanisa nga kwakulembeddwa Dr. Mose Maka. Kwategekeddwa mu luggya lwa kkanisa era kwetabiddwaako abantu bangi okwabadde; Minisita omubeezi ow'Obulambuzi, Godfrey Kiwanda, ababaka ba Palamenti: Fred Baseke (Ntenjeru South), Noah Butebi Wanjaala (Nakasongola) ne Okin P.P.Ojala (Chwa East - Kitugum) ne bannanddiini ab’enjawulo abaasabidde Nantaba Katonda amukulembera mu by’akola n’okumukuuma.

Nantaba yawaddeyo ekirabo ky’okuzimba ennyumba y’Omusumba ku kkanisa eno okwebaza by’ayiseemu.

POLIISI EREMESA ABA SSEBULIME

Poliisi yayoose kuyimiriza omukolo ogwabadde gutegekeddwa ku Mayors Garden e Kayunga okusonderako ssente z’abaana ba Ronald Sebulime eyakubwa amasasi ng’ateeberezebwa okuba nti yali ayagala kutuusa bulabe ku Nantaba. Poliisi yawadde amagezi aba Kayunga Youth Network abaabadde bategese okugwongezaayo okutuuka nga May 25, ng’egamba nti terina bukuumi bumala nabo ne bakkiriza.

'ABAAGALA OKUNZITA BALI MU GAVUMENTI'

Olwakutte akazindaalo, Nantaba eyabadde ne nnyina Lakeeri Naluwooza, yagambye bwati: "Kambatandikire ku lunaku lwe twali tugenda e Kyankwanzi, omukuumi wange n’afuna essiimu nga bamugamba nti, batadde abajaasi ba Uganda ku nsalo ya Uganda ne Rwanda naye abaateereddwaayo be bali mu kibinja omukuumi wange mw’agwa (Tugume) era ateekwa okubeera ng'agenda kyokka waliwo omukyala akola mu kibinja n’akuba essimu",

Yabadde akyayongera okuyiwa bwino Minisita Kiwanda n’omu ku bakuumi be ne bamukuba obwama abantu ne batandika okuleekaana nga bamusaba abyogere, kyokka oluvannyuma lw’obwama Nantaba n’ategeeza nti k’ayite ku ngulu eby’omunda abireke wabula n'alumiriza nti, abaagala okumutta bali mu Gavumenti era amannya gaabwe yagawadde Pulezidenti.

"Bwe twagenda ekyankwanzi Minisita Irene Muloni yansaba okukomawo okutegekera Pulezidenti eyali agenda okuggulawo ebbibiro ly’amasannyalaze e Busaana ku Lwokuna ne nva e Kyankwanzi ng’olusirika terunnaba kuggwa.

Omukolo gw’okutongoza bwe gwaggwa nga March 24, 2019 nnakeera okwetaba ku mukolo ogw'okugabira abalimi ensigo kyokka ku ssaawa 4:00 ez’okumakya waliwo mutabani wange eyankubira essimu nti waliwo omuserikale avuga kabangali ya poliisi e Kayunga amukubira essimu ng'amubuuza.

Namugamba ampeereze ekifaananyi kye ku ssimu, wabula omuntu gwe yansindikira nga simumanyi bwe nnabuuza ne ntegeezebwa nti y’omu ku ba poliisi abapya abakaleetebwa e Kayunga.

Nagezaako okwogerako ne DPC Joel Tubanone ne ntegeezebwa nti yali akyusiddwa ku lunaku olwo olwa Ssande ne mmuwakanya era kwe ku nsaba nkubire Tubanone kye nnakola naye n'ankakasa nti, kituufu akyusiddwa lwa kuba tebannamuwa bbaluwa emutwala mu kifo ekirala naye n’antegeeza nti, ne RPC atwala ebitundu bya Kampala East naye akyusiddwa ekyantabula omutwe kuba lwali lunaku lwa Ssande", Nantaba bwe yagambye.

Yayongeddeko nti mutabani we Luyinda yamuyita mu nnyumba n'ategeeza nti, waliwo kabangali ya poliisi eyali esimbye mu luggya ng' omuserikale obwedda ankubira essimu y’agivuga, kwe kumusaba amusabe ayingire mu nnyumba gye yamubuuliza ekyali kimuleese, Omuserikale n'amutegeeza nti kabangali eweddeko emipiira, ekintu ekyatabula Nantaba n'amubuuza nti, kuva ddi ng'omubaka wa Palamenti y'agula emipiira gy’emmotoka za poliisi?

Omuserikale kwe kumuddamu nti, nedda Honarebo, osobola okutuyamba, awo Nantaba kwe kumuddamu nti: “Enkya ku Mmande hhenda kwogera ne bakama bo bakwanguyize okukufunira emipiira.

Naye nnasigala simatidde ne nziramu ne mmubuuza nti naye obadde oyagala ki mbulira? Nagamba n’agamba nti, sirina kirala kindeese mbadde nsaba mipiira”.

“Omuserikale ng'agenze, nnasalawo eby’okugenda ku mukolo ogw'okugaba ensigo mbisazeemu, ne mutabani wange ne mmugaana okuvuga ne mmulagira avuge loole y’ensigo bazigabire abalimi omukuumi wange ne mmulagira anvuge tudde e Kampala.

Mu kutuuka ku pampu y’amazzi nga ku Ssezzibwa nnalaba mmotoka Premeo hhenda okulaba nga nnengera omubaka Mutebi owa Nakasongola naye eyabadde ku mukolo, nnamuyimiriza kuba yali mu kitundu kyange ne tutandika okwogera, wano pikipiki eyasooka we yatuyitirako ng’eva e Kayunga edda Kampala ne bankubira jjambo nga bwe bampita ate akabanga katono era pikiki y’emu n’ekomawo, kyokka ne bayimirira ne bansaba okujja okubalabako e Buyobe ne mbategeeza nti nja kugendayo ne badda ku pikipiki yaabwe ne boolekera e Kayunga ate mu ddakiika ntono ne baddamu ne babayitako nga badda e Kampala.

Ku Ssezzibwa bulijjo bateekawo abaserikale nga balina kabangali nga baaza buli mmotoka eziva n’okudda e Kayunga, kyokka ku lunaku olwo tewaaliwo muserikale wa poliisi yenna wadde kabangali ya poliisi.”

Bwe yatuuse ku by’oku mudaala we yali agula ebibaala yayise omuwala nannyini mudaala naye eyabaddewo ku mukolo ne bayimirira babiri n’atandika okuttottola nga bwe byali.

“Bannange omukuumi wange (Tugume) yandagira okukuba essimu ewa DPC w’e Kayunga ng’omusajja amaze okuyita e Kambimbiri ate nga ne pikipiki eyatuyiseeko nga njogera n’omubaka esimbye mu maaso ga kkampuni ekola oluguudo lwa SBI. Essimu ya DPC w’e Kayunga okuddamu okugikubaako nga teriiko omukuumi kwe kusalawo n’akubira baserikale banne basobole okukuba ku poliisi y’e Naggalama.

Wano Nantaba yasirise n’atandika okweyisa emikono mu maaso ng’asangula amaziga kyokka nga takozesa katambala nga bw’agamba nti: “Pulezidenti wagamba nti kawuukuumi omunene mu poliisi wamuggyamu naye wakyaliwo obutono ate kati bwaludde obwana nze hhenda kufa kuba ne Kirumira bwatyo bwe yagambanga era ne bamutta!”.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze