TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Ssebulime balangidde minisita Nantaba okujaguza olw’okufa kweSsebulime

Aba Ssebulime balangidde minisita Nantaba okujaguza olw’okufa kweSsebulime

By Musasi wa Bukedde

Added 20th May 2019

FAMIRE ya Ronald Ssebulime banyiivu olwa kye baayise Minisita Nantaba okwongera okubalaata n’atuuka n’okujaguza okusimattuka ‘abatemu’ nga poliisi yamala dda okukakasa nti, Sebulime yattibwa mu bukyamu, teyalina kakwate na bya kukola bulabe ku Minisita Famire ng’eyita mu looya waayo Nkunyingi Muwada, yafulumizza ekiwandiiko eggulo ng’etegeeza nti, Ssebulime yattibwa mu bukaymu abaserikale oluvannyuma lwa Nantaba okubawa amawulire amafu nti yali amulodoola.

Lab2703422 703x422

Baategeezezza nti mu kiseera kino omuserikale Cpl. David Ssali avunaanibwa mu kkooti e Mukono naye Nantaba eyawa amawulire amafu ayinaayina era yatuuse n’okujaguza kye yayise okusimattuka ‘abatemu’.

Baayongeddeko nti n’omuserikale eyawa Cpl. Ssali ebiragiro okutta Ssebulime naye takwatibwanga ng’ate amasimu ge n’ebyo bye yayogera ng’alagira okutta basobola okubifuna.

Baagambye nti Ssebulime yaleka abaana bawala ate nga bali mu myaka mito, naye tebamanyi oba bano baneeyongerayo okusoma kuba kitaabwe ye yali abaweerera ate nga ne nnyaabwe yafa eyandibadde abeerawo.

Mwannyina wa Ssebulime, Irene Nakazibwe yategezezza nti famire terina busobozi buweerera baana bano kumalako kusoma kuba kitaabwe eyali ayiiya ssente ezibaweerera yafa nga kati tebamanyi kiddako.

“Tulina okutya nti abaana baffe bayinza okuremwa okusoma ekiyinza okubaviirako okufuna ebizibu eby’enjawulo naye Gavumenti tevangayo wadde okutuyamba nga mu kino tusaba ensonga zaffe bazikwate n’amaanyi kuba omuserikale waabwe yatta mwannyinaze nga tamaze kukola kunoonyereza kwonna”, Nakazibwe bwe yayongeddeko.

Basabye Ssaabalamuzi wa Uganda, Bart Katureebe, Ssaabawolereza wa Gavumenti William Byaruhanga n’ebitongole by’ebyokwerinda byonna okulaba ng’obwenkanya bubaawo.

Ronald Ssebulime yattibwa nga March 24, 2019 e Nagojje bwe yateeberezebwa okulondoola Minisita omubeezi owa ICT Idah Nantaba n’ekige ndererwa eky’okumu tta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.