TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Dr. Sarah Nkonge bamusabidde ku ky'omubaka omukazi owa Lwengo

Dr. Sarah Nkonge bamusabidde ku ky'omubaka omukazi owa Lwengo

By Musasi wa Bukedde

Added 20th May 2019

"Nsaba Katonda ansaasire bwemba saasooka kukisabira okuwangula ku mulundi guno nzize munsabire ate nga sigenda kukoma mu Bakristaayo nnina n'okwolekera enzikiriza bwe ziba tezikontana n'amateeka ga Uganda."

Dr 703x422

Abasumba mu kkanisa ya Kaboyo Church of Uganda (ku ddyo) nga basabira Dr. Sarah Nkonge.

Bya FLORENCE TUMUPENDE

 

OMUTABAGANYA w'ebibanja n'ettaka mu ofiisi y'ebyettaka era nga ye muyima wa ttiimu y'abakyala eya 'She Cranes,” Dr. Sarah Nkonge Muwonge asisinkanye bannaddiini ab'enjawulo okumusabira okuwangula akalulu k'omubaka omukazi owa disitulikiti y'e Lwengo asobole okutaasa Bannalwengo mu by'enkulaakulana.

"Bannalwengo kino njagala mukitegeere nti tewali Palamenti ya ggwanga oba n'amawanga agatwesudde erina abakiise abateesa mu Luganda. Ensonga y'Oluzungu nsonga nkulu nnyo abaffe tunaawaayo tutya ebizibu ebiruma abantu baffe nga tetumanyi Lungereza.

Nsaba Katonda ansaasire bwemba saasooka kukisabira okuwangula ku mulundi guno nzize munsabire ate nga sigenda kukoma mu Bakristaayo nnina n'okwolekera enzikiriza bwe ziba tezikontana n'amateeka ga Uganda, Dr. Sarah Nkonge bwe yategeezezza".

Omusumba w'obusumba bw’Abakrisitaayo mu Lwengo Rev. Jameson Baligye ng'awerekeddwaako bannaddiini ab'ekkanisa y’Abakrisitaayo eya Kaboyo C/U baasitukiddemu okusabira Dr. Sarah Nkonge.

Rev. Baligye yatenderezza Dr. Nkonge olw'okwagaliza Lwengo ebirungi mwe yaweeredde eky'okulabirako nti wadde nga teyayitamu mu kalulu  yasigala akyasakira Lwengo ekitali mu bakulembeze abalala abaawangulwa akalulu.

Rev. Baligye yamuloopedde nga bwe balina ekizibu ky'entambula y'omusumba era  Dr. Nkonge yabawadde ceeke ya mitwalo 50 n’abasuubiza okubongera ensimbi endala kuba abadde tamanyi kizibu kibaluma n’abategeeza bw’abadde azze ng'ayaayaanira okumusabira okuwangula akalulu.

Wano Nkonge yasabye Gavumenti esitukiremu ekangavvule abantu abavuddeko okwonoona amaka ga bannaabwe ekivuddeko obutabanguko okweyongera.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze