TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Emikolo gy'okutegeka olunaku lw'Abajulizi e London giri mu ggiya

Emikolo gy'okutegeka olunaku lw'Abajulizi e London giri mu ggiya

By Musasi wa Bukedde

Added 20th May 2019

BANNAYUGANDA abeegattira mu kibiina ekimanyiddwa nga Uganda Cryodon Catholic Community ekisangibwa ku njegoyego z'ekibuga London bali mu keetalo nga beetegekera okujaguza olunaku lw'abajulizi olubeerawo buli mwaka nga 3 June.

Bajulizi 703x422

Bya JUDITH NALUGWA
 
BANNAYUGANDA abeegattira mu kibiina ekimanyiddwa nga Uganda Cryodon Catholic Community ekisangibwa ku njegoyego z'ekibuga London bali mu keetalo nga beetegekera okujaguza olunaku lw'abajulizi olubeerawo buli mwaka nga 3 June.
 
Akulira ekibiina kino Robert Mpiima Mugambe annyonnyodde nti okwawukanako n'ebitundu ebirala omuli ne Uganda, bbo olunaku luno baakulukuza nga 9 June ku Klezia ya St. Chad Catholic church esangibwa mu South Norwood.
 
Mpiima Mugambe era annyonnyodde nti enkiiko ezitegeka omukolo wamu n'enteekateeka zonna zigenda mu maaso era nga balina we batuuse.
 
Mpiima agamba nti bayise bannaddini okuva mu biti eby'enjawulo bangi wamu n'abagenyi abeebitiibwa nga muno mwe muli n'omubaka wa Uganda mu Bungereza, Julius Peter Moto wamu n'abakulumbeze ab'ennono okuva mu bitundu eby'enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi