TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakulembeze be Kawempe bakukkulumidde poliisi olw'okutyobola ekitiibwa kyabwe

Abakulembeze be Kawempe bakukkulumidde poliisi olw'okutyobola ekitiibwa kyabwe

By Moses Lemisa

Added 20th May 2019

Abakulembeze be Kawempe bakukkulumidde poliisi olw'okutyobola ekitiibwa kyabwe

Hat2 703x422

BASSENTEBE b’ebyalo   mu  Kawempe balumirizza  abakulira  poliisi z’omu bitundu  byabwe   okutyoboola obukulembeze  bwaabwe

Ezimu ku nsonga eziruma bassente kuliko  poliisi  okukola  ebikwekweto mu bitundu byaabwe nga tebategeezezzako nefundikirira ng’ekutte abatuuze abatalina mutawaana n’ekigendererwa ky’okubajjamu ssente  olwo abamuenyi b’amateeka ne basigala nga bayinayina .

Okumenyamu  ndaga muntu z’abantu  ababa bakwatiddwa,  okulemesa   bassentebe  okweyimirira  ababa bakwatiddwa nga tebalina mutawaana, okukuba abantu ekiro awatali kutalizza abali mmotoka n’abebigere nga LC tekimaanyiko.

 

Poliisi okukola ku misango emitonotono egirina   okukolebwako  LC  kuli ababbi be nkoko ,  abapangisa abaganye okusasula bannanyini mayumba  , abatuuze abawemula    gyonna poliisi y’egikolako n’ekigendererwa ky’okufuna ssente mubavunanibwa   wabula  poliisi  ezimu ezikolagana ne ba ssentebe tegikyayingizza misango mitono  zigirekeera LC

Michael Buyondo ssentebe wa Kanyanya Komamboga yategeezezza nti  abakulira poliisi mu kawempe  balina okuteeka  ekitibwa mu bassentebe b’ebyalo  okusinga okubatwala ng’abatalina magezi mu buli nsonga   , yagasseko nti poliisi egenda ku byalo n’eyoola abantu abatalina mutaawana  abakyamu ne basigala nga bayinayina

Omulangira Hebert Kimbugwe ssentebe wa lc ii mu muluka gwa komamboga yategeezezza nti  poliisi eyitirizza okuyingira nsonga za LC okuli eze ttaka, ensonga entono eza Famire , yagambye nti abasirikale aba LC babatwala ng’abantu abatalina mugaso kuba bwe bagenda okweyimirira abantu ku poliisi babalemesa olw’okuba baba bagala enguzi okuva mu ba Famire y’omuntu aba akwatiddwa ng’owa LC baba bamulabanga ng’ekiziyizza

 

Omulangira Joseph Kimbugwe ssentebe wa Kyebando katale zooni yategeezezza nti  bassentebe bagala tebandibadde nabuzibu kuba bbo bagala poliisi ekolaganane  nabo mu kulwanyisa abamenyi b’amateeka okusinga okubaleka emabega   obumenyi bw’amateeka ne busigala nga bugenda mu maaso

OMWOGEZI WA POLIISI MU KAMPALA N’EMIRAANO

Luke Owoyesigyire   omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiraano yategeezezza nti poliisi ne LC bakola omulimu gwe gumu okukuuma butebenkevu ku byalo nga talaba lwaki waliwo okusika omuguwa , yagasseko  n’asaba abantu bonna abazze bamenyebwa ndaga muntu zaabwe nga balina obukakafu bagende mu kitongole kya  PSU okuloopa abasirikale abaakikola bavunanibwe mu mateeka kuba teri ali awagulu w’amateeka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi