TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Selena Gomez alangiridde bw'agenda okufumbirwa omuzannyi wa firimu ow'emyaka 68

Selena Gomez alangiridde bw'agenda okufumbirwa omuzannyi wa firimu ow'emyaka 68

By Musasi wa Bukedde

Added 20th May 2019

Selena yatambulira ku mukolo gwa Cannes ogwa kapeti emmyuufu nga Murray atongoza firimu ye empya emanyiddwa nga “The Dead Don’t Die” era ebifaananyi ebyakubibwa ku mukolo guno byalaga bulungi enkolagana ya Selena n’omuzannyi nakinku Bill Murray.

Gomez 703x422

Murray ng'akuba Selena Gomez akaama ku mukolo.

BYA MARY NAMBWAYO

Mwana muwala amanyiddwa nga Selena Gomez 26, nga yaliko muninkini wa Justin Bieber avuddeyo n’alangirira bw’agenda okufumbirwa omuzannyi wa firimu amanyiddwa nga Bill Murray 68, gwe yatambula naye ku kapeti emmyuufu ku lunaku bwe beetaba ku Cannes Film Festival wiiki ewedde.

Selena yatambulira ku mukolo gwa Cannes ogwa kapeti emmyuufu nga Murray atongoza firimu ye empya emanyiddwa nga “The Dead Don’t Die” era ebifaananyi ebyakubibwa ku mukolo guno byalaga bulungi enkolagana ya Selena n’omuzannyi nakinku Bill Murray.

Mu bifaananyi ebimu Bill yalabibwako ng’akuba Selena obwama era kino kyaleka buli omu yeebuuza kyamugamba era ku Lwokuna Selena yagenda ku akawunta ye eya Instagram n’alangirira nga ye ne Bill bwe bagenda okufumbiriganwa.

“Neesiimye okubeera nga nabadde omu ku baalabiddwaako mu firimu ne Jim era n’okubeera nga nazannye. Wabula nze ne Bill Murray tugenda kufimbiriganwa,” bwatyo bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze