TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita alonze akakiiko akanaasalawo ku nzirukanya ya yunivasite za Gavt.

Minisita alonze akakiiko akanaasalawo ku nzirukanya ya yunivasite za Gavt.

By Benjamin Ssebaggala

Added 20th May 2019

MINISITA w’ebyenjigiriza Janet Museveni alonze akakiiko ka bantu 17 okwekenneenya lipooti eyakolebwa akakiiko k’omugenzi Dr. Abel Rwendeire ku nzirukanya y’emirimu mu yunivasite, okwegugunga n’okwekalakaasa okubadde kubuutikidde Makerere.

Team 703x422

Polof. Eriabu Lugujjo (ku kkono) Rev. Con Dr. John Senyonyi (owookusatu ku kkono) addiridde ye Bakkabulindi, Muky. Janet Museveni, Polof. Kayanja ne Polof. Mondo Kagonyera emabega we.

Wiiki eno, mukyala Museveni yatongozezza akakiiko akakulemberwa Polof. Fredrick Ian Bantubano Kayanja ng’omulimu omukulu ogukakawasiddwa kwekwekenneenya lipooti ya Rwendeire babagemu enkola enaagobererwa mu yunivasite za gavumenti zonna okwetoloola eggwanga.

Omukolo gw’okukatongoza gwabadde mu State House e Nakasero n’agamba nti abantu bonna abalondeddwa okutuula ku kakiiko kano balondeddwa n’obwegendereza kubanga babeetegerezza nga bonna bantu abalina obusobozi okukola omulimu guno nga n’ekikulu mu byonna batya Katonda, abamazima era abateenyigira mu mbeera za kusika muguwa.

“Mulondeddwa okuva mu Bannayuganda abangi okubeera nti mmwe muwomye omutwe mu kwekenneenya lipooti eyakolebwa Rwendeire egenda okwesigamibwako okukola ennongoosereza mu tteeka erifuga yunivasite zonna n’amatendekero aga waggulu.

Omulanga gwe mbakubira mwesige Katonda, eri pulezidenti n’abaana baffe abatunuuliddwa okukola ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso” Mukyala Museveni bwe yabakuutidde.

Allen Babugura owa Kabale University, Polof. Christine Dranzoa amyuka Cansala wa Muni University, Polof. Eriabu Lugujjo amyuka Cansala wa Ndejje University, Rev. Polof. Samuel Abimelech Luboga ne Rev Canon Dr. John Senyonyi amyuka Cansala wa Uganda Christian University, Polof. Mondo Kagonyera, Alex Kakooza Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyenjigiriza n’abalala.

Polof. Kayanja yeeyamye okukulemberamu akakiiko kakole omulimu ogukakwasiddwa mu butuufu baleme kuswaza babalonze era bakakase nti ebbago ly’enkola gye baagala okukola baakulibaga bulungi mu mutima oguluubirira okuteekawo eby’enjigiriza eby’omutindo mu ggwanga n’okulaba nga yunivasite n’amatendekero bifina ebiseera by’omumaaso ebitangaavu.

Bammemba baakakiiko bakakasizza nti essira baakulissa ku kulaba nga Uganda efuna ekiddibwamu ekituufu ku mbeera y’okusomesa ebiwa obusobozi mu bayizi n’abasomesa okukola omulimu mu bw’esimbu n’okuwa ekisoboka okukolebwa ku bantu abangi abatikkiddwa ddiguli kyokka nga tebalina mirimu.

Omwak 2016, pulezidenti Museveni yalonda akakiiko okubuuliriza ku mivuyo egyali mu yunivasite e Makerere okuli okwekalakaasa okwali kususse mu bayizi n’Abasomesa ne kuviirako okuggala yunivasite, enkwata y’ensimbi za Makerere era byonna bye baazuula babiteeka mu lipooti ne bagikwasa pulezidenti mu December wa 2017 nga kati balinze kubitesaako n’okubissa mu nkola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze