TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Gravity ne Weasel baggyeko Bannayuganda mu Amerika situleesi

Gravity ne Weasel baggyeko Bannayuganda mu Amerika situleesi

By Martin Ndijjo

Added 20th May 2019

Gravity Omutujju ne Weasel Manizo bakubye Bannayuganda ababeera mu Amerika emiziki egibafuukudde n’okubagyako situleesi.

Zella1 703x422

Abaddigize nga banyumirwa obulamu

Kwabadde kulya, kunywa, kusala ddansi n’okweggyako situleesi ku kabaga ka ‘Gal Power’ akategekeddwa mwana muwala Nnalongo Don Zella ku ku Rhino Lounge e Waltham, Boston ku Lwomukaaga.

 baddigize nga banyumirwa obulamu Abaddigize nga banyumirwa obulamu

Gravity Omutujju ne Weasel Manizo owa Goodlyfe be bakulembeddemu abayimbi abasanyusiza abantu abeeyiye ku kabaga kano era bano babakubye omuziki ne babaleka nga basaba ‘anko’ era bano begattiddwako Kapalaga Baibe n’abalala.

 easel ngabakuba emiziki Weasel ng'abakuba emiziki

Wadde nga bano babeera mu kupatikana nga banoonya ssente, Bannayuganda okuva mu bitundu by’Amerika beeyite mu kifo kino okweggyako situleesi. Bakira babakuba emiziki bwe baleekanira waggulu n’abamu okuwaga nti ffe kati tukaddiye . twalyako bye twalya ebyasigalira bya bamussaayi muto.

 apalaga aibe ngayimba ku ddyo ye on ella Kapalaga Baibe ng'ayimba ku ddyo ye Don Zella

Weasel yayimbye ennyimba ze n’omugenzi Moze Radio kumpi okuzimalayo bakira ayimba abaddigize abamu nga basala dansi ate abalala ekiseera kino bakikozesezza okujjukira Omugenzi Radio.

 byana nga binyumirwa Ebyana nga binyumirwa

Don Zella agamba ssente ezavudde mu kabaga kano akajjumiddwa ennyo agenda zikozesa mu kuddukira abakyala n’abawala abali mu bwetavu omuli n’okubagabira ‘pad’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze