TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bugingo ateeredde akaka abamusekeeterera: Abayise balogo

Bugingo ateeredde akaka abamusekeeterera: Abayise balogo

By Musasi wa Bukedde

Added 21st May 2019

PAASITA Aloysius Bugingo agambye nti abalondoola ennyumba ye empya gy’azimbye e Wakiso balogo bennyini.

Bugi 703x422

Paasita Bugingo mu kubuulira gye buvuddeko.

Yabyogeredde mu kusaba kw’amalya g’ekyemisana ku Mmande mu kkanisa ye eya House of Prayer Minisitries Internatinal e Makerere.

“Abantu abalogo tebalaga byabwe balaga bya bannaabwe.

Okuloga tekutegeeza kubeera na mayembe gokka, bw’oba tosobola kulaga nnyumba ya taatawo ate lwaki olaga eza banno?”, bwe yeebuuzizza.

Yalumbye abamawulire abaakuba ennyumba ye ebifaananyi n’agamba abagoberezi okwegendereza bye basoma mu lupapula lwe yayise olwa Gavumenti. Bino biddiridde okulumba Bukedde nti amulondoola n’atuuka n’okuwandiika ebivumo Bugingo by’azze alangira Teddy.

Bugingo yaakalangira Teddy ebivumo 15, mu lujjudde ekivuddeko okussa Bugingo mu lubu lw’abasajja “abatalina nsa” abamansa ensonga z’omu maka ez’obufumbo. Era yakudaalidde basumba banne be yagambye nti bamukolokota nga balowooza nti basobola okumusuula n’ategeeza nti bamala bya mubulago kubanga ye musumba eyatumibwa mu kyasa kino.

“Nze ndi mubuulizi wa njiri ow’ekyasa kino ne bw’ononkolokota nja kusigala ng’enda mu maaso”, bwe yagasseeko.

Yategeezeza nti abamulwanyisa yabakwasizza Katonda tajja kulwanagana nabo wabula Katonda y’alibasasula.

Yajulizza ebyawandiikibwa okuva mu Zabuli 94:1 nti agezaako okwonoona omwana w’omuntu, Katonda y’alimusasula.

Yasekeredde be yagambye nti balemera mu mbeera embi ne balemwa okugenda mu maaso wadde nga n’olumu emikisa gyabwe gibeera mu maaso n’ategeeza nga ye bwe yagaana okwesiba ku bikadde “Omukisa gwo teguli mu ‘past’ guli mu maaso.

Olaba n’enseenene ezaakwatibwanga mu bisubi ebiteete kati bazikwatira ku mabaati agaliko amataala.” N’abuuza abagoberezi: ggwe bw’oba nseenene ogwa ku ki?

Yayongeddeko nti bangi balindiridde okumwogerako nga bwe yaggwaamu nga kati batandise okuwakana n’abasaba basooke bamanye obuzito bwe bazitowa olwo balowooze ku ky’okumulumba

“Bw’obanga tonnaweza bitundu 50 ku 100 eby’omuntu gw’ogenda okuwalampa totawaana”.

N’agumya abagoberezi be nti embeera gy’ayitamu ssi nnyangu naye bagume kubanga naye mugumu era mumativu nti terina gy’eyinza kumutwala.

Leero Bugingo ali mu kkooti enkulu ku musango ogwamuwawaabirwa omu ku baliraana be Hajji Ali Sserunjogi ng’awakanya ekya Bugingo n’ekkanisa okumulekaanira nga bali mu kusaba ne bamubuzaako emirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....