TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Nantaba yakyasibye omusango ku bya Ssebulime - Poliisi

Minisita Nantaba yakyasibye omusango ku bya Ssebulime - Poliisi

By Musasi wa Bukedde

Added 21st May 2019

POLIISI eyanukudde Minisita omubeezi owa tekinologiya, Idah Erios Nantaba, ku bya Ronald Ssebulime n’egamba nti y’akyasibye omusango guno okugenda obulungi olw’okugaana okuwa sitatimenti enzijuvu.

Tiisa 703x422

Minisita Nantaba ne nnyina Lakeeri Naluwooza.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Minisita Nantaba akyalemeddwa okukolagana obulungi ne poliisi okuwa sitatimenti eneeyamba okunoonyereza ku by’okumutisatiisa nga yakoma ku sitatimenti ye gye yeekolera etannyonnyola bulungi ku by’okumutiisatiisa okumutusaako obulabe.

“Minisita Nantaba aleme kulimba ku nsonga za Ssebulime ng’akimanyi bulungi nti sitatimenti gye yeewandikira erina ebigibulamu era atuukiriddwa enfunda eziwera akole sitatimenti enzijuvu naye yeebalama abaserikale abanoonyereza ku musango guno” Enanga bwe yagambye.

Yagambye nti sitatimenti gye yakola ebulamu ebintu bingi nga tennyonnyola nnyo ku by abantu abaamulondoola, kyokka bw’aba avuddeyo n’abaako by’annyonnyola mu sitatimenti endala emuggyiddwaako abaserikale bayinza okufuna ekinyusi we batandikira.

Yategeezezza nti eby’okumutiisatiisa Nantaba abyogerera mu mawulire talina ky’abuulidde poliisi nga ne lwe yasooka okugenda ku poliisi e Naggalama okugitegeeza nti waliwo abamulondoola kwe yakoma nga tebaddayo kumuwuliza.

Yagambye nti bw’aba alina okutiisibwatiisibwa kwonna akutwale ku poliisi ekunoonyerezeeko wabula bw’aba teyeesiga poliisi oba nga tamatira ngeri gy’ekolamu emirimu gyayo atuukirire ebitongole by’ebyokwerinda ebirala.

Yannyonnyodde nti poliisi eyagala okumanya okutiisibwatiisibwa Minisita Nantaba kw’ayogerako esobole okukunoonyerezaako n’engeri gye kwajjawo okusinga okudda mu mawulire.

Yannyonnyodde nti baafuna olukalala lw’amasimu Cpl. David Ssali avunaanibwa okukuba Ssebulime amasasi agaamuttirawo ne bakakasa nti tewali yamuwa kiragiro, kyokka yakikola ku lulwe era ng’abaserikale abaalondoola Ssebulime waaliwo okubawubisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza