TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Palamenti etadde gav't ku nninga ku kusuubiza okubunyisa amasanyalaze mu Buganda

Palamenti etadde gav't ku nninga ku kusuubiza okubunyisa amasanyalaze mu Buganda

By Muwanga Kakooza

Added 21st May 2019

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza ekisuubizo ky’okutuusa amasanyalaze mu bitundu bya Buganda ebiwerako kyokka ne bitatuukirizibwa.

1280pxparliamentofuganda 703x422

Baatandikidde mu disitulikiti  y’e Mubende gavumenti gye yasuubiza okutwala amasanyalaze e  Madudu, Butoloogo, Kalonga, Kyenda,Kattabalanga,n’ebitebe by’amaggombolola  Kitumbi n’e  Makokoto.

Kyokka okusinziira ku lipooti eyafulumiziddwa akakiiko ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti akakulirirwa omubaka Kaps Hassan Fungaroo ekisuubizo kino ekyakolebwa gavumenti emyaka egisoba mu musanvu egiyise kyokka tekituukirizibwanga.

Mu disitulikiti y’e Kasanda kyazuuliddwa nti gavumenti yasuubizza okutwala amasanyalaze e  Kasambya , Nakasagga okutuuka e Kisugu.

Era kyasuubizibwa nti gagenda kuggyibwa e Kasanda okutwalibwa e Kikandwa mu ggombolola y’e Kalwana.Kyokka kyazuuliddwa nti amasanyalaze gagyibwa e Kasanda okutwalibwa e Bukuya kyokka ng’ebitundu okuli Kikandwa, Nakasaga ne Kisugu tegatuukayo.

E Mityana ab’akakiiko baazudde nti mu 2009 gavumenti yasuubiza okutwala amasanyalaze mu bitundu okuli ; Kikonge - Bongole, Kikonge - Kalama, Wabiyinya -

Katoogo - Sande, Kitongo – Buluma. Kyokka ababaka ne balaga okwenyamira nti wayise emyaka munaana ng’ekisuubizo kino tekituukirizibwa ne bagamba nti eby’okugatwalayo birabika ng’ebyakoma ku mimwa.

E Nakaseke , akakiiko kaazudde nti gavumenti yasuubiza okutwala amasanyalaze mu bitundu nga Kikyusa mu gombolola y’e Semuto n’e Naluvule mu ggombolola y’e Kapeeka.

Ate nti mu 2013 waliwo okusuubiza okuggya amasanyalaze e Ngoma okugenda mu bitundu nga  Wakya - Bange - Bugambakimu -Kijebejo - Namirali - Kito - Namirembe - Bukakala - Kawoomya - Kufu -Kaloke - Kikubampanga - Nakatandagira - Mawalwa - Semuto - Kikondo - Lu1e.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi

Kayihura1 220x290

'Eby'okutta Kaweesi byandeetera...

GEN. Kale Kayihura azzeemu okwogera ne Bukedde n’ategeeza nti, abamulumiriza okutta eyali omwogezi wa poliisi,...