TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gav't etadde amateeka amakakali ku kulima n'okusuubula Vanilla

Gav't etadde amateeka amakakali ku kulima n'okusuubula Vanilla

By Muwanga Kakooza

Added 21st May 2019

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino n’okulwanyisa omuze gw’okumubba oguvuddeko n’abamu ku bamulima okufiirwa obulamu bwabwe.

Vanilla1 703x422

Minisita w’eggwanga ow’ebyobulimi Christopher Kibazanga (ddyo) ng’ayogera mu lukung’ana lwa bannamawulire mu Kampala. Wakati ye kaminsona avunaanyizibwa ku birime Alex Lwakuba ate asooka ku kkono ye Aga Ssekalaala omu ku balimi ba Vanilla.

Mu ngeri y’emu disitulikiti ezirima Vanilla nazo zitandise okweteerawo  amateeka aganaabayamba okukuuma ekirime kino nga mu zimu agamenya asobola okusibwa emyezi mukaaga oba okutanga 40,000/=.

Bino minisita w’eggwanga ow’ebyobulimi Chrisptopher Kibazanga eyabadde n’abakungu ba minisitule y’ebyobulimi okwabadde kaminsona  Alex Lwakuba n’abakulira ekibiina ekigatta abalimi n’abasuubula  Vanilla abakulirwa Aga Ssekalaala Snr be babitegeezezza bannamawulire ku Media Centre mu Kampala.

Kyalangiriddwa nti okukungula Vanilla wonna mu ggwanga kujja kukolebwanga lumu ng’okukungula okwa sizoni esooka kulina kutandika June 15 n’okweyongerayo. Ng’ate ey’okubiri etandika December 15.

Kino kikoleddwa okutangira abakungula Vanilla atanakula bulungi wamu n’okulwanyisa abamubba nga tanakula ne bamutunda.

Kyokka kyategezeddwa nti olw’okuba abalimi tebatandika kumulima ku lunaku lumu abalimi babalekeddemu akalembereza ka wiiki bbiri nga basobola okutandika nga June 15 terunatuuka oba nga wayiseewo wiiki bbiri.

Kaminsona Lwakuba yagambye nti waliwo abalimi abatandise okufiirwa obulamu bwabwe olw’ababba Vanilla okubateega mu nnimiro ne babattirawo.

N’agamba nti waliwo eyabadde akuuma Vanilla n’akasaale e Kasese ne bamussa masasi. Kwe kusaba ab’ebyokwerinda okuyamba ku nsonga zino.

Gavumenti yategeezezza nti abalimi ba Vanilla bagenda kuwandisibwa  buli omu bamanye wali wamu n’okusindikirwa obunyonyi (Drones) obulondoola ennimiro zaabwe okulaba ebikolebwa. Era baasuubizza n’okukola etteeka eryomuzinzi  erirung’amya eby’okulima  n’okutunda Vanilla.

Amateeka amalala gagenda kulondoola eddagala erikozesebwa mu kufuuyira Vanilla, entunda y’ekirime kino,engeri gy’apakingibw, entambuza y’ensigo n’ebirala.

Kibazanga yasabye poliisi n’ebitongole ebikuuma ddembe okweyambisa amateeka okukuuma abalima ekirime kino n’okulaba ng’omutindi gusigala waggulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze