TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza ebibuga 9 mu ggwanga

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza ebibuga 9 mu ggwanga

By Muwanga Kakooza

Added 21st May 2019

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali bifuulibwe ebibuga ebinene ebiri ku ddaala lya ‘city (ssite). Ebibuga bino kuliko; Entebe , Jinja, Mbarara,Mbale , Hoima ,Gulu,Fort Portal ,Arua ne Lira.

Oo112 703x422

Ofwono Opondo ng’ayogera eri bannamawulire

Ebibuga bino kuliko; Entebe , Jinja, Mbarara,Mbale , Hoima ,Gulu,Fort Portal ,Arua ne Lira.

Omukozi w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kufulumya amawulire ga gavumenti Ssuubi Kiwanuka (Media Centre) eyayogedde ku lw’omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo yagambye nti okutandika ne July w’omwaka ogujja munisipaali y’e Lira egenda kukuzibwa efuuke ‘ssite’ ng’ezingiramu ekitundu kya Arua ne Ayivu divizoni.

Divizoni ya Mbarara North ne Mbarara South zigenda kufuuka ‘ssite’ y’e Mbarara,Jinja South ne Jinja North bifuulibwe ‘’ssite’ y’e Jinja, ate ebitundu by’e Gulu okuli divizobi y’e Loroo – Pecce ne Layibi bifuuke ‘’site’ y’e Gulu. Olwo Fort Portal North ne South bifuuke ‘’ssite’’ y’e Forportal.

Okuva July 2021, divizoni ye Mbale Indsutrial ne Mbale north bifuuke ‘ssite’ y’e Mbale olwo Hoima East ne West bifuuke ‘’ssite’ y’e Hoima.

July 1 , 2022 ekibuga Ntebe egenda kufuuka ‘’ssite’’ ng’eva mu divizoni y’e Entebe North ne Entebe Central.

Gavumenti esuubira nti ebinaava mu kukuza ebibuga bino kuliko okufuna enguudo ennungi eza kkolaasi, obuyonjo ng’okuyoola kasasiro, okufuna amazzi amalungi n’okubipulaninga obulungi.

Ebibala ebirala kuliko; okwongera ku bungi bw’emisolo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze