TOP

Basaba bannakawere bawummule emyezi 6

By Musasi wa Bukedde

Added 21st May 2019

Bannamateeka baagala abakyala abazadde bawummule emyezi mukaaga.

Bya Norah Mutesi
 
 
Nulu Nakakawa, maama w’abaana bana naye yasalawo nalekawo omulimu gwe ogwali gumusasula obulungi, n’atandika bizinensi kubanga gye yali akola yali tafuna budde bumumala okubeerako n’abaana be naddala nga yakazaala.  
Ono tali yekka, waliwo n’abalala bangi omuli ne Jackline Ainebyona, omusomesa wa siniya mu ssomero erimu mu Kampala. Ono agamba nti, “Nasindikibwa ku luwummula lw’okuzaala naye bwe nakomawo, nasanga omulimu gwange bagugabye, era ensonga eyampeebwa yali ya kulwayo nga nkyayonsa.
Abakulu b’essomero bampa emyezi ebiri egy’okuwummula naye ne nneeyongezaamu emyezi emirala ebiri nga sibategeezezza kuba nnalaba ng’omwana wange akyanneetaaga okumulabirirako kuba namuzaala tannatuusa,” Ainebyona bw’annyonnyola.
 
Bannamateeka kye bagamba
Mu lukuhhaana lw’abakyala olwali mu Kampala omwaka oguwedde, nga lubeerawo buli mwaka, omulamuzi Catherine Bamugemereire yagamba nti, ayagala abakyala baweebwe emyezi mukaaga egy’oluwummula lw’okuzaala bamaama basobole okulabirira abaana baabwe obulungi.
Yagambye nti, oluwummula lwa bataata ne bamaama nga bazadde liba ddembe lyabwe ery’obwebange eritalina kubaggyibwako.
Mu kusooka oluwummula lwali lwa nnaku 45, naye okusinziira ku tteeka erikwata ku bakozi eririwo kati, ennaku zaayongezebwayo ku nnaku 60 (nga tobaliddeeko nnaku ezitali za kukola).
Wabula mu lukuhhaana olwategekeddwa aba Uganda Human Rights Commission olwabadde lukubaganya ebirowoozo ku kukyusakyusa mu tteeka erikwata ku ddembe ly’abaana, abakyala baakomezzaawo eky’abakyala okuwummulira emyezi mukaaga era abantu ab’enjawulo ne bawa endowooza zaabwe.
Ruth Ssekindi, owa Uganda Human Rights Commission agamba nti, emyezi esatu egiweebwa abakyala gimala era okugyongerako okufuuka mukaaga kiba kizza eggwanga emabega. 
“Weewawo abakyala bayinza okusanyuka ne bwe baweebwa ennaku 100, naye olw’okuba nti bangi mu ggwanga abatalina mirimu, kitegeeza nti bw’olwayo ku luwummula lwo, omulala agwetaaga bw’anaagusaba gujja kumuweebwa,” Ssekindi bw’agamba. 
Sylvia Nanyonga, awandiika abakozi ku OSTEC Business Solutions mu Kampala agamba nti, emyezi omukaaga gikosa abakozesa mpozzi ne kkampuni.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tap22 220x290

Abasomesa abatali ba Pulofeesa...

Abasomesa abatali ba Pulofeesa ku yunivasite bawadde obukwakkulizo

Lab15 220x290

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June...

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June 3

Kit1 220x290

Batutte omulambo ku disitulikiti...

Batutte omulambo ku disitulikiti lwa kubamma bbaluwa

Kit1 220x290

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka...

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka akwasizza abazadde

Tr1 220x290

Poliisi ekunyizza abaatomedde owattulafiki...

Poliisi ekunyizza abaatomedde owattulafiki