TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abtex ne Bajjo batutte omudduumizi wa poliisi Ochola mu kkooti

Abtex ne Bajjo batutte omudduumizi wa poliisi Ochola mu kkooti

By Martin Ndijjo

Added 21st May 2019

Abtex ne Bajjo batutte omudduumizi wa poliisi ne ssaabawolereza wa gavumenti mu kkooti lwa bivvulu bya Bobi Wine.

Abi 703x422

Abtex ku kkono. Lukwago ow'okubiri ku ddyo ne Bajjo ku ddyo mu kkooti

ABATEGESI b’ebivvulu bya Bobi Wine ebya Kyalenga Extra baagala kkooti eggyewo envumbo poliisi gye yateeka ku bivvulu byabwe obutategekebwa.

Leero Abbey Musinguzi owa Abtex Productions ne Andy Mukasa owa Bajjo Events nga bali ne Munnamateeka waabwe Loodi Meeya Erias Lukwago owa M/S Lukwago & Co Advocates bawawaabidde omudduumizi wa poliisi ne Ssaabawolereza wa Gavumenti mu kkooti enkulu mu Kampala.

Mu mpaaba yaabwe bawakanya ekya poliisi okusazaamu ebivvulu bye baali bategese n’okugaana Bobi Wine okuyimba nga bagamba byakolebwa mu bukyamu.

Bagamba nti baayingira mu ndagaano ne Bobi Wine (omubaka Robert Kyagulanyi) ya ssente

230,000,000/- okutegeka ebivvulu bya ‘Kyalenga Extra Concert’ nga April 4, 2019 e Busaabala ku One Love Beach, May 3, 2019 e Lira, May 4, 2019 e Gulu ne May 5, 2019 mu Arua.

Ku ssente zino baamuwaako ekitundu nakkiriza okuyimba n’okuleete abayimbi be abalala wabula baafiirizibwa olwa poliisi okubagaana.

Bano kati baagala kkooti eggyewo envumbo poliisi gye yateeka ku bivvulu bya Bobi Wine basobole okukola era okusinziira ku Lukwago agamba etteeka erirung’amya enkungaana z’ebyobufuzi, poliisi mwe yayita okugaana ebivvulu bino terikola ku bivvulu by’abayimbi.

“Olw’okuba abantu bange bagoberezi b’amateeka, poliisi ne bwe yayita mu tteeka erirungamya enkungaana z’ebyobufuzi eritakola ku bivvulu, obukwakulizo bwonna obwabasibwako baabutuukiriza omuli: okuwandiikira poliisi, okulaga olukalala lw’abayimbi abagenda okuyimba, ebyokwerinda, ekifo we bagenda okukola n’ebirala.

Yagambye nti kyewuunyisa nti poliisi yagenda mu maaso n’okugaana ebivvulu nga kati baagala kkooti ebayambe.” Lukwago bwe yagambye.

Abtex ne Bajjo era bawakanya ekya poliisi okubakwata bwe baali bagenze e Busaabala nga baagala kkooti eragire baliyirirwe olw’okufiirizibwa.

Omuwandiisi wa kkooti enkulu, Sarah Langa fayiro y’omusango guno yagisindise wa mulamuzi, Lydia Mugambe agenda okugukolako nga balindiridde lunaku.

Bano baagala gavumenti eyise ekiwandiiko bw’eba teyagala Bobi Wine addemu kuyimba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pop2 220x290

Abadde awa omwana obukerenda bw'otulo...

Abadde awa omwana obukerenda bw'otulo n'agenda okwetunda Poliisi emukutte

Lab1 220x290

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa...

Ow'emyaka 5 agudde mu kidiba n'afa nnyina n'azirika

Sab1 220x290

Ababadde bagufudde omuze okubba...

Ababadde bagufudde omuze okubba mukama waabwe kkamera zibakutte

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...