TOP

Paasita Bujingo talabiseeko mu kkooti

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd May 2019

Paasita Bujingo talabiseeko mu kkooti

Kip2703422 703x422

Paasita Bugingo

Ku Mmande yalangiriridde nga bw’agenda ku Kkooti Enkulu ku musango gw’okuwogganira abantu ogumuvunaanibwa.

Yakunze abagoberezi okujja mu bungi ku kkooti bamuwerekera kyokka ye kennyini teyalabiseeko n’abagoberezi bazze batono ddala.

Mu kkooti omusango gw’okuwogganira abatuuze b’e Makerere ogwamuwawaabirwa Hajji Ali Serunjogi n’abalala 200 gwatandise okuwulirwa naye n’omulamuzi teyazze.

Bugingo yasindiseeyo looya we eyategerekeseeko erya Ruhinda okumukiikirira.

Abagoberezi ba Bugingo abaabadde beetegese okumuwerekerako baawuddiisiddwa bwe baakedde okweyiwa ku Kkooti Enkulu e Kampala ewulira emisango gya nnagomola kyokka nga omusango guli Nakasero mu kkooti ey’engassi.

Hajji Serunjogi yabadde akiikiriddwa looya we Luyimbazi Nalukoola era baalooya bonna olwatuuse mu ofiisi y’omulamuzi Bashaija, baalabye kiraaka we eyabawadde olunaku olulala olw’okukomawo ku kkooti (October 2, 2019) kubanga omulamuzi yabadde taliiwo

POLIISI y’e Matugga etubidde n’omwana jjajjaawe gwe yasudde ku poliisi y’e Matugga ng’agamba nti akooye muzzukulu we okumubbiranga ebintu. Joweria Nabbanja ye yaleese Abdul Hakim Mukiibi 10 (wansi), ku poliisi. Nabbanja yagambye nti okuva lwe baamusuulira Mukiibi, y’amukuzizza kuba bamumusulira muwere ate nga mutabani we yafa ng’omukyala ali lubuto. Entabwe okutabuka yavudde kukumubbira emitwalo 6 kyokka n’azeegaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.