TOP

Mwebale kudduukirira Basiraamu

By Joseph Mutebi

Added 22nd May 2019

ABAKULIRA amakampuni mu ggwanga baweereddwa amagezi okudduukiriranga Abasiraamu abatalina busobozi nga babawa ebikozesebwa naddala eby’okusiibulukuka mu mwezi guno ogw’ekisiibo bagabane ku mpeera.

Sheikh 703x422

Wano nga bakwasa abakulira omuzikiti gw’e Kibuli ebintu by’okusiibulukuka.

“Okusiibulula Abasiraamu mu kiseera kino eky’omwezi omutuukuvu tekitegeeza nti olina kumala kufuuka mugagga wabula nga ffe abaweereza abantu tulina okubaddizaako mu kiseera nga kino kuba balina obwetaavu.

Eno y’ensonga lwaki tuvuddeyo okuwa abakulira omuzikiti gw’e Kibuli eby’okusiibulukuka basobole okuliisa Abasairaamu abatalina,” akulira kkampuni ya Liquid Telecom, Denis Kahindi bwe yategeezezza.

Bino Kahindi yabyogeredde ku muzikiti e Kibuli bwe yabadde agenzeeyo n’abakozi be ku Lwokutaano okukwasa akulira ba Imaamu ku muzikiti guno, Shiekh Abdul Salam Mutyaba ebintu by’okusiibulukuka.

Mu bino mwabaddemu; ensawo za sukaali, bookisi za sabbuuni, butto, eng’aano, omunnyo n’ebirala bikozesebwe abasiibi.

Sheikh Mutyaba yabeebazizza okulumirirwa Obusiraamu wadde agikulira, Denis Kahindi si Musiraamu.

Yagambye nti kikulu nnyo okuwa Abasiraamu naddala ku muzikiti kuba bangi bava ewaabwe mu kisiibo ne bajja ku mizikiti okusiibulukuka.

“Wano e Kibuli ekitono ennyo mu kiseera kino tusiibukulula Abasiraamu abasukka mu 250 olunaku era bwe mutuwa ebintu nga bino kiba kikulu nnyo gye tuli okwanguya omulimu guno,” Sheikh Mutyaba bwe yategeezezza.

Wadde nga kkampuni eno yabadde yeeyamye okuyunga omuzikiti gw’e Kibuli ku mukutu gwa WiFi, Sheikh Mutyaba yakigaanyi ne mu luggya lwagwo kuba Abasiraamu bandiremererwa okusaala n’okukola emirimu emirala egibatutte ku muzikiti.

Wabula yagambye nti bajja kwongera okukyogerako balabe oba bagibateera mu ofiisi zaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap1 220x290

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde...

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

Jingo1 220x290

Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca...

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

Mentees4webuse 220x290

Abawala abazaala nga tebanneetuuka...

Abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli basomeseddwa emirimu eginaabayamba okulabirira abaana ababazaalamu be babalekera...

Blick002 220x290

Blick ayagala kuwangula mpaka z'e...

Blick agamba nti ssinga awangula empaka z'e Hoima, kyakutangaaza emikisa gye egy'okusitukira mu ngule y'eggwanga...

Rdcwemukonokuddyofredbamwinengakwasageorgentulumeekirabokyesaawaekyamuweereddwaokumwebazaolwemirimugyewebuse 220x290

Ab'e Mukono baanirizza CAO ne RDC...

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza CAO omuggya ssentebe wa LC V n'amulabula obuteesembereza ba ng’ambo...