TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Enzizi 8 ku buli 10 e Mukono zirimu obucaafu-bakugu

Enzizi 8 ku buli 10 e Mukono zirimu obucaafu-bakugu

By Henry Nsubuga

Added 22nd May 2019

Enzizi 8 ku buli 10 e Mukono zirimu obucaafu-bakugu

Wat1 703x422

Wazeewo akasattiro abakugu mu by’obulamu bwe bategeezezza ng’enzizi 8 ku buli 10 ezaakebereddwa mu kibuga Mukono wakati (Mukono Central divizoni) bwe zirimu obucaafu.

Josephine Mbabazi atwala okunoonyereza ku by’obulamu mu Mukono Central divizoni ategeezezza nti obucaafu buno buvaako okulwaza abantu ebirwadde okuli omusujja gw’omubyenda (typhoid) n’ebirwadde ebirala.

Mbabazi yagambye nti kino baakizudde oluvannyuma lw’okunoonyereza okwakolebwa abakugu mu kitongole ky’eby’obulamu mu Mukono Central divizoni bwe baakebera amazzi okuva mu nzizi 20 ne basanga ng’ezizi ezisinga zirimu obuwuka.

Yagambye nti entabwe eva ku kuba nti abantu bangi bazimbye okumpi n’enzizi zino ate nga ziri mu bikko ng’abaazimba waggulu waazo ne basima zi kaabuyonjo, zivaamu obukyafu obukulukuta ne bwegatta mu mazzi ate abantu ge basena ne bakozesa n’okunywa nga n’abamu tebagafumbye.

Ye meeya wa munisipaali y’e Mukono, George Fred Kagimu yagambye nti okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa, ku buli nzizi 10 ezaakeberebwa, 8 ku zzo zirimu obuwuka ng’amazzi gaazo tegasaanidde kukozesebwa.

Yagambye nti embeera eno baagitegeeza aba National Water ne babasuubiza okubunyisa amazzi aga ttaapu mu bantu wadde nga kino kibadde tekinnatuukirira.

Dr. Simon Peter Nsingo, akulira eddwaliro lya Mukono Church of Uganda yagambye nti okumala ebbanga nga lya mwaka mulamba, babadde bafuna abalwadde abalina obulwadde bwa typhoid nga bangi nnyo nga kino bazze bakiteeka mu alipoota ze bawandiikira abakulu b’eby’obulamu ku munisipaali ne ku disitulikiti.

Dr. Nsingo yagambye nti obulwadde bwa typhoid busasaanyizibwa ssinga oli aba ng’anywedde amazzi agalimu obubi bw’abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.