TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mumboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'empirinvuma okulwanyisa obulumi ng'oli mu nsonga n'abembuto

Leero mu mumboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'empirinvuma okulwanyisa obulumi ng'oli mu nsonga n'abembuto

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd May 2019

Leero mu mumboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'empirinvuma okulwanyisa obulumi ng'oli mu nsonga n'abembuto

Kab2 703x422

Butto w’empirivuma.

BW’OBA omanyi ensansa kiba kyangu okumanya empirivuma. Zino ziva ku muti gw’ensansa eziruka emikeeka ne ze bakozesa okunyeenya amatabi (abamu bakiyita olukindukindu). Wabula omuti guno bwe gukula guteekako ebibala ebiyitibwa empirivuma.

Olw’obugumu bw’omuti guno kwe baggya n’erinnya lya Kabaka erya Lukoma Nnantawetwa, kubanga enkoma nazo ziva okwo. Ensigo z’empirivuma ze zimu ku nsigo ezikyasinze okukaluba era omuti kwe ziva gumala ebbanga erisoba mu myaka 50 nga gusika eminnyo mu ttaka ne gugiyingiza mu nsigo zino.

Enkima n’ebisodde birya ensigo zino ne bitalumbibwa ndwadde. Tezirina bulabe ku muntu, era tuzirya naye engeri gye tuzitegekamu si ntuufu. Abamu basooka kuzisiikako ate ekitta ebirungo ebirimu, osaanye kuzirya nga mbisi naye zikaluba awo ffe aba Pro Biorearch tukwanguyirizza ne tukamulamu butto.

Era butto akamuddwaamu ayamba bino;

Okwongera omutima amaanyi n’okugumya ebinywa ne nnabaana, era ky’ova olaba edda abakyala nga bali mbuto nga bazirya ne basobola obutazaalira ku biso. N’olumu nga bazaalira waka ku kitooke.

Egumya amagumba, omuntu n’atambula olugendo oluwanvu naye nga takooye era bw’otunuulira Abasenegal abazirya ennyo baba bagumu ate nga balina amaanyi. Tunuulira ku bazannyi b’omupiira abavaayo.

Ezibukula enseke z’abakyala kuba erimu ekirungo kya ‘Nicotinic acid’ ekizibukula enseke z’abakyala amagi ne gasembera omukyala ne kimwanguyira okufuna olubuto.

Eyamba ku bakyala abali mu nsonga obutalumizibwa, bano bakozesa butto waayo.

Nnungi ku bantu abalina enkwaso ennafu, naddala ssinga omukozesa ng’omugasse wamu ne butto ava mu biryo by’ensujju.

Ziyamba abaana abasoma kuba butto alimu vitamiini B6 ayamba omuntu okulowooza n’okukwata amangu.

Zikkakkanya alusa.

Ayamba ku binyama ebikwata mu nnyindo naddala mu baana ne baba nga baziyira olumu kibaviirako okufa.

Ebizimba mu nnabaana kuba etereeza obusimo bw’omubiri n’otafuna bizimba.

Abantu abeerabira ennyo naddala abakadde, butto abayamba okuba nga tokyerabiralabira. l Akola yogati, oddira butto w’empirivuma n’omugatta mu yogati n’okola yogati azzaamu amaanyi ate nga wa butonde.

Empirivuma ezzaamu amaanyi g’ekisajja n’okuwangaalira mu kisaawe.

Eyamba ku bantu abalina obulwadde bw’abazira ssinga onywa akajiiko kamu ku mazzi agabuguma. l Abaana abatera okulumbibwa endwadde ebayamba okuzirwanyisa.

Ekibi empirivuma bagitemye naye kye kiseera okutandika okugisimba. Bw’oba onywa oteeka akajiiko kamu mu mazzi agabuguma. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...