TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyavuganya ku bukulembeze bw'abayizi e Makerere abuze

Eyavuganya ku bukulembeze bw'abayizi e Makerere abuze

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd May 2019

George Muzaale omutuuze w’e Jinja nga ye kitaawe wa Mukisa annyonnyola nti yafuna amawulire g’okubula kwa mutabani we Olwokutaano oluwedde nga May 17, 2019 era ng’okumala ebbanga abadde n’essuubi nti omwana we yandibeera mu mikwano gye nga waakudda essaawa yonna.

1 703x422

Mukisa bw'afaanana

BYA PROSSY NABABINGE           

Joshua Mukisa 22, omu ku baavuganya ku bukulembeze bw’abayizi e Makerere omwaka guno abuze mu ngeri etategeerekeka n’aleka  bayizi banne ne bazadde be mu kutya.

Omuyizi ono abadde asoma diguli mu mateeka mu mwaka gwe ogw’okusatu  era ng’abadde asula mu yunivasite munda mu Lumumba Hall.

George Muzaale omutuuze w’e Jinja nga ye kitaawe wa  Mukisa annyonnyola nti yafuna amawulire g’okubula kwa mutabani we Olwokutaano oluwedde nga May 17, 2019 era ng’okumala ebbanga abadde n’essuubi nti omwana we yandibeera mu mikwano gye nga waakudda essaawa yonna.

Agamba nti mutabani we abadde asula ne muyizi munne mu kasenge ke kamu era ng’ono  yabategeezezza nga bwe yakoma okulaba ku munne ekiro ky’Olwokutaano ng’ayingira mwe basula ng’olwo ye agenda kugula kyaggulo wabula nga mu kukomawo, ekisumuluzo we baakitereka w eyakisanga ng’akasenge kaabwe kasibe bulungi wabula nga Mukisa taliimu wadde ng’essimu ye yali agirese munda.

Muzaale annyonnyola nti yabadde n’essuubi okutuusa olunaku lw’eggulo mutabani we bw’atazze kukola bigezo bye.

Bano bagguddewo omusango ku poliisi y’e Makerere ku fayiro; 37/20/05/2019 era basabye yenna aliko ky’amanyi ku mayitire ga Mukisa abayambe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...