TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde omwogezi w'Obusiraamu e Lwengo alondeddwa nga Disitulikiti Khadi waayo

Abadde omwogezi w'Obusiraamu e Lwengo alondeddwa nga Disitulikiti Khadi waayo

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd May 2019

Oluvannyuma lwa Kadhi w'e Lwendo, Sheikh Juamah Muweesi okufa, Obusiraamu bw'e Lwengo bwatandika okutuula obufoofofo kw’ani agenda okubeera Kadhi era olukiiko olubakulira ne lulonda amannya abiri okuli Sheikh Umar Kigongo Ssuuna abadde akuuma entebe y'obwa Kadhi awamu n'erinnya erya Sheikh Ismeal Kibuule agaatwalibwa mu ofiisi ya Uganda Muslim Supreme Council okusunsulibwa.

Sheikhkibuulengalagaebbaluwaeyamuwereddwamufutiwaugandasheikhmubajeeyobwakadhiwelwengo 703x422

Sheikh Kibuule ng'alaga ebbaluwa eyamuweereddwa Mufuti Mubajje ey'obwa Kadhi w'e Lwengo.

Bya FLORENCE TUMUPENDE

MUFUTI wa Uganda, Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje alonze abadde omwogezi w'Obusiraamu era nga ye ssaabawandiisi w'Obusiraamu mu disitulikiti y'e Lwengo, Sheikh Ismeal Kibuule okubeera disitulikiti Kadhi w’e Lwengo.

Kino kiddiridde eyali Kadhi w'e Lwengo, Sheikh Ahmed Juamah Muweesi Omutonzi okumujjulula mu September w'omwaka oguwedde bwe yafa ekirwade ekya sukaali.

Okuva ku olwo Obusiraamu bw'e Lwengo bwatandika okutuula obufoofofo kw’ani agenda okubeera Kadhi era olukiiko olubakulira ne lulonda amannya abiri okuli Sheikh Umar Kigongo Ssuuna abadde akuuma entebe y'obwa Kadhi awamu n'erinnya erya Sheikh Ismeal Kibuule agaatwalibwa mu ofiisi ya Uganda Muslim Supreme Council okusunsulibwa.

Mu bimu kwebyo ebyali biteekeddwako okwekenneenyezebwa ku mannya agaalondeddwa, kwe kumanya obuyigirize, obuweereza, obukozi, empisa, okumanya Olungereza n'Oluwarabu n'ebirala.

Okuva nga September 12, 2018 ofiisi ya Uganda Muslim Supreme Council ebadde mu kafubo k'okulonda omuntu omutuufu anaasobola okutambuza emirimu gy'Obusiraamu mu Lwengo.

OBUWEREZA BWA KIBUULE

Sheikh Ismeal Kibuule musajja muyigirize ng'alina Diploma in Business Standards, Higher School Certificate in Islamic Studies okuva mu Bilal Islamic Insititute.

Abadde akola ku by'obuwandiisi bwa NRM mu ggombolola y’e Kisekka, akulira amasomero g'obusiraamu mu Lwengo, omwogezi w'Obusiraamu mu Lwengo era omuwandiisi w'Obusiraamu mu Lwengo.

EBIRUUBIRIRWA

Sheikh Ismeal Kibuule asuubizza okugatta Obusiramu mu Lwengo, okugatta eddiini awatali kusosola, abavubuka, abaana n'abakyala obutasuulibwa mabega awamu n'okuleeta enkulaakulana mu Busiraamu.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi