TOP

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd May 2019

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

Wat2 703x422

Oluseregedde lw’emmotoka za poliisi n’amagye nga ziri e Namugongo.

EBITONGOLE by’ebyokwerinda mu ggwanga bisisinkanye e Namugongo okutema empenda z’okunyweza ebyokwerinda.

Ebitongole ebikuliddwa amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Maj. Gen. Sabiiti Muzeyi kwabaddeko poliisi erwanyisa obutujju, SFC, poliisi y’amagye (Military Police) ab’ebidduka nga bakulembeddwaamu Norman Musinga n’abalala.

Abapoliisi abalala abaabaddeyo kuliko; Moses Kafeero aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano n’omumyuka we Dennis Namuwoza, aduumira poliisi ya Kampala East Michael Musani, owa Kira Road Michael Kasigire, ow’e Kira Division Shifa Kiriibwa, Maj. Gen. Kawagga Francis Omoding akulira Poliisi erwanyisa obutujju n’abalala.

Bano e Namugongo baatuuseeyo ku ssaawa 2:00 ez’oku makya era ne beevumba akafubo akatakkiriziddwaamu balala wadde bannamawulire.

Ensonda zaategeezezza nti emu ku nsonga ze baanokoddeyo y’eyabavubuka abagenda e Namugongo okubba ne bakkiriziganya nti anaakwatibwa ajja kutwalibwa butereevu Luzira era nga waakumalayo emyezi esatu.

Oluvannyuma ku ssaawa 5:00 ez’oku makya baakomekkerezza olukiiko lwe baabaddemu ne batandika okulambula ekifo kyonna nga bwe banoonya ebifo ebyetaagisaamu obukuumi obw’enjawulo.

Baalambudde ebiggwa byombi eky'Abakatoliki n'Abakulisitaayo. E Nakiyanja kitegeerekese nti baakukkiriza emmotoka z’abakungu ezitasukka 300 era nga ku mulyango we wagenda okussibwa ebyuma musanvu ebikebera abantu.

Omulyango oguva ku kkubo gwe gujja okuyitibwamu abakungu okuli Pulezidenti ne bannaddiini bonna era nga bano olunaamala okuyitawo nga waggalwa. Ku ssaawa 9:00 ez’akawungeezi wazzeewo olukiiko olw’enjawulo olwetabiddwaamu abateesiteesi b’e Namugongo mu Bakatoliki n’abakuumaddembe.

Kyategeerekese nti baabadde bagabanya buvunaanyizibwa buli kitongole bwe kinaakola wakati wa poliisi n’abantu baabulijjo. Olukung’aana luno lwetabiddwaamu Ssaabakulisitu wa Uganda, Gervase Ndyanabo mu kiseera kye kimu nga y’amyuka akulira Vision Group

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embuutu1 220x290

Ekivvulu ky’Embuutu y’Embuutikizi...

Buli ayingira mu Mbuutu y’Embuutikizi ajja kuvaayo n’ebirabo.

Kapyata1 220x290

Baminisita b’e Mmengo babayiyeemu...

BAMINISITA ba Kabaka baayiriddwaamu emmotoka ensajja okubanguyiza emirimu gy'Obwakabaka. Kyategeezeddwa nti emmotoka...

Hoima 220x290

Amasasi ne ttiyaggaasi binyoose...

POLIISI yakubye amasasi ne ttiyaggaasi okugumbulula abawagizi ba Asinansi Nyakato avuganya mu kalulu ku kifo ky’omubaka...

Lukwago1 220x290

KCCA egobye abakulira akatale k’e...

OLUKIIKO olufuga ekibuga Kampala lwongedde okuluma. Lugobye ssentebe w’akatale k’e Wandegeya Jonathan Gitta ne...

Mbuga1 220x290

Abavunaana SK Mbuga babawadde nsalessale...

Ayolekedde okuyimbulwa ssinga babulwa abajulizi