TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd May 2019

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Hot5 703x422

OMULAMUZI wa Kkooti Ento e Wakiso, Esther Nakadama ayongezzaayo omusango oguvunaanibwa abagambibwa okutta omwana ne bamuziika mu nkukutu.

Cotlida Namakula, Sameo Kiwanuka, Jole Kikuuno ne Godfrey Kawunde be bavunaanibwa okutta omwana Emmanuel Wasswa oluvannyuma ne bamuziika mu nkukutu. Bano baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Nakadama ne basomerwa omusango gw’okutta Wasswa nga February 14, 2019.

Bano baategeezezza nti “Omulamuzi tetulina kye tumanyi ku musango ogutuvunaanibwa naye tubadde tusaba kweyimirirwa kuba ekkomera lituyisa bubi”.

Nakadama yabategeezezza nti, “nnabagamba kkooti yange terina buyinza buta muntu ku musango nga guno ogumuvunaanibwa wabula mulinde Kkooti Enkulu oba omulamuzi anaatunula mu nsonga zammwe n’alaba engeri gy’ayinza okubayambamu.” Bano baalabise nga bawotose kuba baabadde basuubira okweyimirirwa nga n’abantu ababeeyimirira baabadde beetegese n’empapula zaabwe wabula tekyasobose.

Omuwaabi wa Gavumenti ku kkooti e Wakiso, Emily Ninsiima yategeezezza kkooti nti okunoonyereza ku musango guno kukyagenda mu maaso. Ate nga waliwo n’avunaanibwa omulala akyekwese nga mu kiseera kino ali mu kuyiggibwa okugattibwa ku fayiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza