TOP

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd May 2019

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Ham2 703x422

GEN. MUGISHA Muntu eyeekutula ku FDC atongozza ekibiina kye eky’ebyobufuzi n’alangirira nti embeera y’obukulembeze eri mu ggwanga yeetaaga kwegatta okusobola okuzza enfuga etambulira ku musingi gwa demokulase engulu. Yagambye nti abantu balina okutya okutagambika kubanga abali mu Gavumenti byatya nti, bwe banaagivaamu kiki ekinaabatuukako.

Ate abali ku ludda oluvuganya nabo batya nti banaafuna batya omukisa okuyingira mu Gavumenti emaamiddwa Pulezidenti Museveni n’abantu be. Yasuubizza nti okutya okuliwo y’emu ku mpagi ezitandisizzaawo ekibiina kya Alliance for National Transformation (ANT).

Yakitongozza eggulo ku mukolo mawuuno ogwategekeddwa ku Serena mu Kampala. Bannabyabufuzi okuva mu bibiina eby’enjawulo okuli; DP, UPC, JEEMA, CP n’ekisinde kya ‘People Power’ ekyakulembeddwa Robert Kyagulanyi ‘Bobi Wine’ beetabye ku mukolo okuggyako ekibiina kya FDC. Abaabaddewo kuliko; Nobert Mao (DP), James Akena (UPC), John Ken Lukyamuzi (CP), ababaka ba palamenti okuli; Florence Namayanja, Gonzaga Sewungu, Latif Ssebaggala, Abdul Katuntu, Paul Mwiru, Francies Zaake, Casiano Wadri n’abalala. Bonna baakulembeddwa munnabyabufuzi okuva e Tanzania Fraha Upendo eyasabye bannabyabufuzi ku ludda lwa Gavumenti n’olugivuganya bakkirize okukyusa obukulembeze mu ddembe.

Upendo yagambye nti, Uganda nsi erimu emirembe era eyeeyagaza buli muntu agiyingiramu era tekyetaagisa kutabanguka nga bakyusa obukulembeze. Gen. Muntu yagambye nti, ekibiina kye kiyimiridde ku misingi omuli okwegatta balwanyise obusosoze era ye ayagala buli muntu yeeyagalire mu nsi ye nga buli kimu kigabanibwa kyenkanyi. Yayanjudde nti, ayagala okulaba nga Uganda etumbuka mu kuyiiya n’okukola ebintu eby’enjawulo.

Yennyamidde nti Uganda yakyusibwa nga kati obukulembeze bwonna buzimbiddwa ku muntu omu ate nga bwalibadde buzimbirwa ku bitongole. Muntu yalonze abakulembeze ab’enjawulo okuli; Dan Mugalula abadde owa FDC, Denis Buyungo okuva e Kyotera, Jamirah Naluyange okukwanaganya Kampala, Sulaiman Kakaire n’abalala . Muntu yagambye nti agenda kutambula ku buli kyalo n’okutandika leero okukitunda mu bantu okulaba nga bonna bakimanya.

Yasiimye bannabyabufuzi ab’enjawulo bwe bakolera n’agamba nti balwanirire okukyusa ebyobufuzi by’eggwanga ebyonooneddwa ennyo aba NRM okulaba nti batandika okubyagazisa abantu mu ggwanga.

Yagambye nti NRM ekyayisizza nnyo abantu ebyobufuzi ne bituuka okuyingiramu abantu abatasaana kuba bakulembeze ekitaddewo okusoomooza eri abakulembeze abatunula ewala mu ggwanga.

Muntu yayanjudde nti ayagala ekibiina ekigenda okweyagaza buli muntu era ekinajjukirwa mu ggwanga oluvanyuma lw’emyaka egisoba mu 300. Mu kutongoza, baalaze akabonero aka bbalubu y’amasannyalaze nti, kalaga ekitangaala n’essuubi ekibiina bye kireese.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Nnamwandu w'abaana ababiri ali...

Nnamwandu w'abaana ababiri ali mu kattu e Lwengo

Lab2 220x290

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe...

Abadde mu ADF aloj ja obukambwe obuliyo

Hot2 220x290

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe...

Aba LDU balaze okusoomoozebwa kwe bafuna

Buk2 220x290

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi...

Ab’e Lugazi bajaganya lwa buwumbi 40 ez’okwekulaakulanya

Jip2 220x290

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza...

Embeera y’enguudo e Mukono yeeraliikiriza